TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

By Joseph Makumbi

Added 16th November 2018

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pop1 703x422

OWA poliisi ya Old Kampala n’owa Flying Squad abaakwatibwa ku by’okufa kw’eyali omuduumizi wa poliisi y’e Buyende ASP Mohammad Kirumira amagye gabatadde.
 
Ismael Ssenono eyali omuduumizi w’ebikwekweto ku Old Kampala, yeyasooka okukwatibwa mu muyiggo gw’abatta Kirumira nga September 8, 2018. Ssenono baamukima mu ofiisi ya mukama we Charles Nsaba nga bamugambye nti baali baagala kukola naye kikwekweto.
 
Abaakwata Ssenono, baali bajaasi ba kitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI abaali bakolera ku biragiro okuva ewa pulezidenti. Mukama we, tebaamutegeeza nti musajja yali akwatiddwa baamutwala nga abaali bagenda okukola ekikwekweto naye.
Okusinziira ku miikwano gye beyanyumirizzaako gyabadde, Ssenono bwebaamukwata babadde bamukunya ayogere lwaki yatta Kirumira.
 
Okusinziira ku nsonda, Pulezidenti okuwa ekiragiro okukwata Ssenono baali bamutegeezezza nti, abatta Kirumira baali bamayinja ba poliisi era Ssenono yeyali asinga okubeera ku jjinja erya wansi.
 
Ensonda zaagaseeko nti, Ssenono bwebaamubuuzizza nebakizuula nti talina kakwate konna ku bya kutemula Kirumira, baasazeewo okumutta kyokka nebamutegeeza nti, baabadde bakumuyita essaawa yonna abayambeko mu kunoonyereza kubanga alina obukugu bungi naddala mu bikwekweto.
 
Ssenono bwetwamunoonyezza okubaako kyannyonnyola yagambye nti, ensonga za bannamagye ye tasobola kubaako kyayogera.
 
Omulala eyayimbuddwa ye Deus Bamwesigye ‘Operative’ wa Flying Squad. Bamwesigye naye ba CMI be baamukwata nga kigambibwa nti alina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Kirumira.
 
Okufaananako ne Ssenono, ne Bamwesigye baamuyimbudde oluvannyuma lw’okukizuula nti eyabawa amawulire yabawubisa.`
 
Ensonda mu magye zaategeezezza nti, abantu bangi bebakwata ku by’okutemula Kirumira wabula bebazuula nti tebalina kakwate, babayimbula nebadda ewabwe era waliwo n’abasiraamu b’e Kawempe bebasooka okuyimbula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...