TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

By Lawrence Kitatta

Added 16th November 2018

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Deb2 703x422

Amagye agakuuma ku ggeeti.

AMAGYE geddiza obuvunaanyizibwa bw’okukuuma essomero lya St. Bernard SS Mannya mu disitulikiti y’e Rakai eryakutte omuliro mu kiro ekyakeesezza Mmande ne mufiiramu abayizi 10 ababadde basoma S3.

Okuva ku Lwokusatu ekiro, eggye ezzibizi lyasindikiddwa okukuuma ekifo kyonna ng’abanoonyereza ku nsibuko y’omuliro guno, bwe bagenda mu maaso n’okukuhhaanya obujulizi bwe beetaaga n’okuggya sitetimenti ku bantu abatali bamu. Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, amagye gaagendayo kuyambako ebitongole ebirala kubanga bakolera wamu ng’ebitongole by’ebyokwerinda nti kyokka poliisi y’ebakulembeddemu.

EYATAASA BANNE ANNYONNYODDE Francis Ssembatya omu ku bayizi abaafuba okutaasa bannaabwe agamba nti baali bava kusoma bitabo nga badda mu bisulo byabwe kwe kulaba omuliro ogwali gulabika nga gwakakumibwa nga gukutte ekisulo nga bannaabwe bakuba enduulu n’okuleekaanira waggulu nga bayita obuyambi.

Yannyonnyodde nti yadduka mangu ne yeegattibwako banne bwe baali wabula eky’ennaku bagenda okutuuka ku nzigi nga zonna zisibiddwaako ekkufulu. “Twamenya ekkufulu ezimu abaali munda ne bafuluma wabula ku Block B, akakufulu baali basibyeeo katono nnyo, buli lwe twagezangako okukakuba nga keetooloola. Twagenda okukakutula ng’eddakiika nga15 ziyiseewo.

Mu kadde ako bannaffe abasinga baali baweddemu amaanyi nga n’abamu bafudde omuliro gubakutte.” Ssembatya bwe yagambye. Yagasseeko nti, kkufulu baazimenyera mu bulumi obwamaanyi kubanga ebbugumu lyali lingi ng’ekifo kyonna kikutte ekikka ekiddugavu nga waliwo n’ennimi z’omuliro eziwandagala nga bannaffe tubawulira balaajana. Felis Kaboogere Kabuye alina oluganda ku Brig. Elly Kayanja y’omu ku baakola obukubirire okulaba nga balwanyisa omuliro agamba nti, kyeyalaba tekigenda kumuva ku bwongo okutuusa lw’alifa.

Yagambye nti, atwala poliisi mu kitundu yamukubira essimu ku ssaawa nga zikunukkiriza okuwera omukaaga ez’ekiro, yali agenda kwebaka, engoye ezisulwamu ze yatambuliramu. Agamba nti, yasanga omuliro gumaze okutabuka ng’abazadde ababeera okumpi baatuuse dda naye nga basobeddwa. Agamba nti bwe yayingira awaali tewanakwata muliro, omufaliso gwe yakwatako yawulira guwunya peetulooli.

ABAMU BAAFA BALWANA KUFULUMA Kaboogere yagambye nti, bwe yamenya oluggi, yasanga emirambo gy’abayizi mukaaga nga giri ku luggi omuliro we gwabakwatidde nga balwana okufuluma.

Buli gumu gwali gugudde ku gunnaagwo wabula nga gisiridde byansusso. “Bwe nalaba emirambo gy’abaana abaali bafiiridde obwemage nasiriikirira amaziga ne gasooka gampitamu era kye nnalaba tekiyinza kunva ku bwongo.” Kaboogere bwe yagambye.

Yagasseeko nti olwaggulawo oluggi ng’amaze okuguma, yalagira abayizi n’abazadde okusomba omusenyu nga bwe bayiwa ku bifo ebyali tebinnaakwata muliro okugutangira okusaasaana. Agamba nti okuva ku ssaawa 6:00 ez’ekiro okutuuka ku ssaawa 10:00 ez’oku makya baali mu kulwanagana na muliro.

Essomero liri kinnya na mpindi ne poliisi kyokka ebimotoka ebizikiza omuliro, biri wala nnyo. Henry Nsubuga akulira essomero lino yagambye nti, poliisi baagitegeeza wabula mpaawo kyeyali esobola kukolawo. Agattako nti, baakubira poliisi e Kyotera eyakubira ey’e Masaka nabo baakuba e Kampala mmotoka ezikiza omuliro yatuuka ku ssaawa 11:00 ng’obudde bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi