TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Lab 703x422

Looya Birungi.

MUNNAMATEEKA omukugu mu kuwoza emisango egikwata ku nkaayana z’ettaka n’entalo mu basuubuzi, Wycliffe Birungi owa Birungi and Co. Advocates atunuulidde ebiwandiiko by’abagagga abasatu abakaayanira ebizimbe (Qualicel ne Nabukeera) mu Kampala okuli Drake Lubega, Mansoor Matovu (Yanga) ne Charles Muhangi n’asunsula amateeka bwe galambika ku nsonga nga zino;

Birungi yasookedde ku kkooti ya ssemateeka Drake Lubega gye yatwala emisango. n’agamba nti; Omusango ogwatwalibwayotegulina kakwate na bwannannyini ttaka, kuba kkooti ya ssemateeka teramula bwannannyini bwa ttaka.

Kkooti ya ssemateeka kye yasabibwa okukola kye yakola kubanga buli muntu alina eddembe okwebuuza ku kkooti ya ssemateeka ku nsonga yonna eyeekuusa ku ssemateeka naye tesala misango gya ttaka.

ENSENGEKA Yatunuulidde ebiwandiiko bya Charles Muhangi, poliisi kwe yasinziira okumutwala ku ttaka n’ategeeza nti waaliwo ensobi nnenne eyakolebwa. Ebiragiro byonna ebyogerwako Muhangi kwe yeesigama biva mu musango ogwatwalibwa mu kkooti ya ssemateeka nnamba 37 of 2011.

Ebiragiro byonna ebyaliwo ebikadde mu musango gwa kkooti ya ssemateeka byagibwawo kkooti ey’oku ntikko mu musango nnamba 5 of 2015, Drake Lubega bwe yawaabira ssaabawolereza wa Gavumenti n’abalala. Omusango gwavaayo mu nkola y’okukkiriziganya okuva ku njuyi zonna ate n’okujulira ne kugobwa nga May 26 2017.

Ebiragiro byonna bwe biba byaggyibwawo mu kkooti ey’oku ntikko n’okukiriziganya ne kukolwa ng’omusango Drake aguggyeeyo ate Muhangi tasobola kukwata kiwandiiko kikadde n’akikozesa ku poliisi nti alina ekiragiro ekipya ekimuwa ettaka. Ekituufu kiri nti, tewali kkooti yali eragidde nti bamuwe ettaka.

Yatunuulidde emisango gyonna egyagenda mu kkooti ya ssemateeka n’okusaba okwatwalibwa mu kkooti ey’oku ntikko ku nnamba 5 of 2015, mu kusaba okw’emirundi ebiri temuli kiragiro kimuwa ttaka.

EKIBATAWAANYA Ekitawaanya abagagga abasatu y’entaputa y’ebiwandiiko enkyamu egenderera okuyamba oludda olumu.

Abataputa ebiwandiiko beerabira nti ekituufu kisigala kituufu ataputa ne bw’akiwetaaweta. Waliwo ekiwandiiko ekigamba nti, okugobebwa kwa Muhangi kuyimirizibwe.

Ekiwandiiko ekyo Muhangi, kyokka kino kwe yeesigama nti kkooti yamuwa ettaka ekitali kituufu. Omusango nnamba 37 of 2011, kkooti yagugoba, ekitegeeza nti, n’ebiragiro byonna byavaawo tebikyaliwo era tosobola kubikozesa.

Enkola entuufu ssinga Muhangi agamba nti, ayagala kkooti emuwe obwannannyini bw’ettaka eryo, yandibadde awaaba omusango ogukwata ku ttaka kkooti n’eramula. Mu musango ogwo kkooti mw’esobolera okuwulira n’obujulizi obuva ku buli ludda ne bawoza ku ani nnannyini omutuufu oluvannyuma n’esalawo ng’esinziira ku bujulizi obuleeteddwa.

Bw’otunuulira ebbaluwa ya Charity Nabasa eya October 23, 2018 gye yawandiika ng’alagira Muhangi ayambibwe ate n’awandiika endala eya November 06, 2018 ng’amenyawo gye yasooka okuwandiika.

Ng’amenyawo eyasooka yagamba nti, yakola nsobi kyokka ate poliisi gye yakolamu ensobi kwe yakolera, awo tolabawo obuzibu?

Omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti ku by’amateeka, Mwesigwa Rukutana yabawabulako dda mu bbaluwa gye yawandiika nga July 21, 2017, n’ategeeza nti tewali kiragiro kyonna kiteekeddwa kutwala Muhangi ku ttaka.

Tewali kiwandiiko kyonna kiraga nti Muhangi alina ekyapa ku ttaka eryo. Abasuubuzi tebalina kizibu kyonna era abakaka okusasula ssente z’obupangisa ku mpaka aba akoze nsobi.

Tewali kiragiro kyonna kiva mu kkooti kiragira basuubuzi kuwa Muhangi ssente za bupangisa. Ssinga abadde n’ekiragiro awo omupangisa talina waagaanira naye ku mpapula zino sikirabyeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atubidde n'omulambo gw'ebbujje...

NNAKAWERE atubidde n’omulambo gw’omwana we ow’ennaku enya (4) oluvannyuma lw’okunoonya omuvubuka gwe yamuzaalamu...

Kansala Ddamba alozezza ku bukambwe...

KANSALA Ismail Ddamba (Lubaga South) alozezza ku bukambwe bwa Loodi meeya, Ssaalongo Erias Lukwago.

Fut2 220x290

Amasomero abiri gaggaddwa e Mpereerwe...

Amasomero abiri gaggaddwa e Mpereerwe

Munda 220x290

Ababaka ba NRM basazeewo museveni...

ABABAKA ba NRM abali mu lusirika e Kyankwanzi nabo bawagidde ekya Pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2021 nga...

Kansala Ddamba alozezza ku bukambwe...

KANSALA Ismail Ddamba (Lubaga South) alozezza ku bukambwe bwa Loodi meeya, Ssaalongo Erias Lukwago.