TOP

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Reb2 703x422

Sr. Mugisha (ku ddyo) ne Sr. Namukisa mu katono ye Deo Kasule

ENSONGA z’ettaka ly’ekigo kya Good Samaritan Sisters ekisangibwa e Ttakajjunge mu ggombolola y’e Nama e Mukono zirinnye enkandaggo, akaayanirako ekibanja bw’atiisizza okubasobya ku basisita ssinga tebalekeraawo okukolera ku kibanja kye. Abasiisita bagugulana ne Deo Kasule gwe bagamba nti ayagala okweddiza ettaka ly’ekigo mu lukujjukujju era bamulumiriza okumala ebbanga ng’abatigomya.

Sr. Justine Mugisha bwe yabadde agenze okwekubira enduulu mu kitongole ky’ebyamateeka g’ettaka ekya Transparency International Uganda yategeezezza nti; Ensonga zino zaatuuka ku poliisi ne kkooti kyokka faayiro z’omusango ne zibula mu ngeri etaategeerekeka.

Sr. Mugisha yagambye nti, Ettaka erikaayanirwa zaali yiika 400 nga Kalidinaali Nsubuga yaakaliwa ekigo mu 1975, ne bagenda nga balyesenzaako mpola nga kati wasigadde 10 ate nazo baagala kuzitwala ate nga kuliko n’essomero ery’emikonon’eddwaaliro. Mu kavuyo k’okubba ettaka lino mwe mwajjira ne Kasule abasuza ku tebuukye.

Ono ategeezezza nti, Kasule azze akola ebintu ebibalumya basobole okwegoba ku ttaka ng’olumu yaleeta abasajja be yayita Bawannyondo ne basaawa emmere n’okubatiitiisa okubatemaatema ate ne poliisi teyabayamba ne kw’olwo baagiyita wabula yatuuka kikeerezi. “Kasule yatugamba nti ffe tuli bakazi tetusobola kwerwanako era nti tajja kuwummula okutuusa ng’ettaka alyeddizza” Sr. Mugisha bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti, okuwera kwa Kasule kati kubatiisa okugenda mu nnimiro okufuna emmere era tebakyasobola kwetaaya ng’abantu abalala.

Ate Sr. Annet Sylvia Namukisa, yeemulugunyizza olw’abebyokwerinda abalina okubayamba nga bannamateeka ne poliisi ate nabo okutambulira ku ntoli za Kasule, kwe kwebuuza olwo omunaku waakufa? Yagambye nti, poliisi okutunula ekyamuli ng’abantu baabulijjo batulugunyizibwa kye kibaleetera okwekyawa ne batuuka n’okutwalira amateeka mu ngalo. “Oluusi tubadde tugezaako okufuna obwenkanya mu b’ebyokwerinda ne bakwata Kasule ne bamuggalira wabula n’akataayi tekasala n’ayimbulwa olwo n’atandikira w’aba yakomye” Sr. Namukisa bwe yategeezezza.

KASULE ABAANUKUDDE Kasule ayogerwako ategeezezza nti, ettaka lino alinako ekibanja kya yiika ttaano nga yakigula ku baana b’omugenzi Hajjati Fatuma Buliro mu 2015 era be bannannyini ttaka, era endagaano agirina nga ne ssentebe yagiteekako omukono, olwo nze ayagala ekibanja kyange nabo abakiremeddeko, ku ffembi ani atulugunya banne?

Ebyo bye bagamba nti nneewera okubasobyako bampaayiriza era be bamanyi gye babiggya kubanga nze sibyogerangako wabula kintu kimu bave ku kibanja kyange nkikozese.

Yagambye nti, Abasisita okuva mu 2016, kkooti ezze ebasaba ebyapa by’ettaka lye bagamba nti lyabwe naye tebabireeta, ekitegeeza tewali kiraga nti be bannannyini nga bwe bagamba.

Rev. Godfrey Ssono avunaanyizibwa ku by’ettaka mu Bulabirizi bw’e Mukono yagambye nti, kyannaku okulaba ng’abantu abasinga bakola ebintu mu bugenderevu olw’obutaba na mutima gutya Katonda nga buli omu yeerowoozaako yekka.

Ye Fred Bamwine omubaka wa pulezidenti e Mukono ategeezezza nti, tagenda kukkiriza bikolwa nga bino naddala eby’okugobaganya abantu ku ttaka mu bukyamu n’alabula bawannyondo okuba abeegendereza n’engeri gye bakola emirimu gyabwe n’asuubiza okugoberera ensonga eno.

Lillian Zawedde owa Transparency International, yasuubizza okukola kyonna ekisoboka okugonjoola ensonga z’ettaka ly’ekigo kya Good Samaritan era n’ategeeza ng’ekitongole kino bwe kigenda okulondoola ensonga eno okuzuula aleeta kiremya w’okuggusa ensonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi