TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Muv1 703x422

Kennedy Kyakuwa ne Godfrey Kamya baakwatibwa olw’okwagala okulya omugenzi Nannyonjo.

OKUGGYA kw’abayizi b’essomero lya St. Benards Mannya kye kikangabwa ekikyasembyewo ku bizibu enkumu ebizze birumba disitulikiti y’e Rakai ne bireka abantu nga bawuniikiridde n’okwennyamira. lOmuliro gwasooka kukwata ekisulo kya bayizi ku ssomero lya St. Mary’s Secondary School e Ssanje nga June 30, 2013.

Abayizi abasoba mu 100 baafiirwa ebintu byabwe ebyasirikkira mu muliro nga kwaliko n’ebyabayizi abaali beetegekera okutuula ebigezo bya S.4. Omuliro gwakwata misana.

lEkikangabwa kyagwa mu maka ga Paasita Steven Mugambe abatemu bwe baamuyingirira ne bamutta ne mukyala we Nowerina Naalinya ne nnyina Maria Namatovu kw’ossa bannyina, Bena Nakivumbi eyali omusomesa w’e Kyabazaala Junoir Sch. e Kayunga, Jane Nakiwala eyali omusuubuzi e Jinja, Christine Nassimbwa eyali abeera e Kyakatebe-Bukomansimbi, Maxensia Nakirijja owe Kyampagi-Kyotera kw’ossa Dan Ssemwanga ne mukoddomi we Andrew Mpeirwe. Abaatemulwa bonna baali basuze mu maka ga Mugambe ge yali yaakayingira ku kyalo Kyebe e Kannabulemu nga January 13, 2013.

Abatemu baayolesa obukambwe bwe baabasalako emitwe bonna. lMu mwaka gwe gumu nga March 30, 2013 abatemu baasima ekituli mu nnyumba ye yali akulira abasawo b’ekinnansi mu disitulikiti ye Rakai, Ssande Kagolo ne bamusalako omutwe ne mukazi we Cissy Nakalawa.

Ettemu lyali mu maka gaabwe ku kyalo Kyabakazi mu ggombolola y’e Kagamba. lNga April 05, 2013 abatemu abaali n’ejjambiya baatemako omukadde, Edisa Tebasuulwa omutwe ne gugwa wali, bwe yali ava okufumba caayi ng’afuluma ekiyungu. Ettemu lyali ku kyalo Kisammula okumpi ne Kyotera.

lEttemu ly’okutemako emitwe lyeyongera nga March 17, 2013 abatemu bwe baasima ekituli mu nnyumba y’omusuubuzi w’emmwanyi eyali omututumufu e Kyotera, Charles Yiga ne bamusalako omutwe ne mukyala we Moureen Namaato.

Baabalesa abaana abato bataano ng’eyali omukulu yali ya myaka musanvu gyokka. lMu March 13, 2014 abatemu baatemako omuvuzi wa bodaboda Herman Mugumya omutwe ne bagusuula wali ne bamusonseka mu mufulejje mu zooni ya Namagoma mu kibuga Kaliisizo ne batwala pikipiki ye nnamba UEC 193 Z.

Ekikangabwa ekirala kyaliwo mu April 22, 2016 poliisi e Kyotera bwe yagwa ku hhumbagumba z’abaana abaasaddaakibwa bataano mu kitoogo kya Katengo mu kibuga Kyotera ekintu ekyateeka ekitundu ku bunkenke olw’ebikolwa ebyokusaddaaka abaana ebyali bikyase ennyo e Rakai ne Kyotera.

October 06, 2018 omuliro gwakutte mmotoka ya canter eyabadde etwala amafuta ku kyalo Bukunda e Rakai ne gutta abantu babiri abaabadde mu mmotoka eno bonna ne bafuuka bisiiriiza.

Ekizibu ky’enjala kizze kitawaanya ekitundu kino nga mu 1999, Gavumenti yategeeza nti amaka agasukka 1,500 gaali galumbiddwa enjala ani amuwadde akatebe. Ekitongole kya World Vision International kyawa abantu be Rakai ttani z’emmere 84 zibadduukirire. Ekizibu kye njala kyasinga kukosa ggombolola ye Kifampa.

Mu November wa 2016 Gavumenti era yafulumya olukalala lwa disitulikiti 45 ezaali zirumbiddwa enjala nga ne Rakai mweri. lMu September wa 2016, abantu be Rakai baalumbibwa musisi eyali yaaludde okulabika mu ggwanga, abantu 16 ne bafa ate amaka agasukka 500 ne gasaanyizibwawo e Mutukula.

Abantu b’e Kakuuto, Kyeebe, Kifampa, Kasensero, ne Kibanda be baasinga okukosebwa ennyo. Abantu abasukka 4000 baasigala tebalina we beegeka luba, era n’okutuusa kati bangi tebannaddamu kuzimba mayumba gaabwe agaasanyizibwawo. lObukwadde bwa siriimu obusse ennyo abantu bwasooka kulabibwa mu kitundu kye Rakai, ng’omugenzi Gideon Kivumbi eyali abeera mu ggombolola ye Kebe y’agambibwa okuba nti gwe bwasooka okutta mu November wa 1982.

Amaka mangi gaasigala matongo e Rakai oluvannyuma lw’abaagalimu bonna okufa. lAbasezi baalya Peace Kyomukama n’omwana we ow’emyezi omwenda be baatayiza mu lusuku ne babasalaasala n’oluvannyuma ne bagabana ennyama. Byaliwo nga March 24, 2014 ku kyalo Kyakulugu-Lubimba, e Kooki mu Rakai.

Okumanya ng’abasezi tebawena baaweereza ne ssentebe wa disitulikiti Benon Mugabi obubaka obutiisatiisa nga naye bwe bajja okumulya bw’ataabaveeko. lNga May 18, 2017, abagambibwa okubeera abasezi baasimattuka okuttibwa abatuuze bwe baabalumba nga babalumiriza okutta Saidat Nannyonjo 35, eyabula ng’ava mu katale k’omubuulo.

Kigambibwa nti baamutta n’ekigendererwa eky’okwagala okumulya ne bamutereka mu nnyumba kyokka bwe baategeera nti poliisi egenda kufuuza amayumba gaabwe omulambo ne baguggyamu ne bagusuula ku ttale!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.