TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Kap2 703x422

OMUSAJJA agambibwa nti, yakase omukadde ow’emyaka 78 akaboozi alagiddwa okwewozaako oluvannyuma lw’omulamuzi okuzuula nti ddala alina omusango. Geofrey Ssengendo 37, omutuuze w’e Njagala Kavule mu Ggobolola y’e Gombe mu Wakiso yalagiddwa okwewozaako ku musango gw’okukaaka omukadde Faith Nakanjakko 78, akaboozi ekyamuviirako okufuna ebirwadde ebimutawaanya.

Omulamuzi Jane Francis Abodo owa Kkooti Enkulu mu Kampala yalagidde Ssengendo yeewozeeko oluvannyuma lw’okukizuula nti obujulizi obuleeteddwa bulaga nti ddala alina omusango gwe yazza.

Omukadde Nakanjakko yasoose kutegeeza kkooti nti nga November 12, 2015 yali yeebase ekiro, Ssengendo yamuyingirira n’amukaka akaboozi ate nga bw’amutuga era n’ayisa bubi obulamu bwe.

Omujuluzi omulala Keviina Nakabugo nga ye muliraanwa wa Nakanjakko era eyamudduukirira yategeezezza omulamuzi nti ddala yali Ssengendo eyakaka Nakanjakko akaboozi.

Kuno kwayogenddwaako n’omuserikale wa poliisi eyakwata Ssengendo bonna ne balumiriza Ssengendo okukaka Nakanjakko akaboozi. Wabula Ssengendo yategeezezza nti, byonna ebigenda mu maaso tabitegeera. Omusango gugenda kuddamu nga December 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards