TOP

Doreen Kabareebe yeeyubudde.

By Martin Ndijjo

Added 17th November 2018

Kabareebe yeeyubudde. avudde mu by’okukunama kati azze mu bya kuyamba na kuddukirira abantu abatalina mwasirizi.

Kaba 703x422

Doreen Kabareebe ow'okusatu okuva ku kkono n'abamu ku bavubuka bakola nabbo mu kibiina kye.

Oluvannyuma ebbanga ng’asiriikiridde ne mu ggwanga talimu ekiretedde abawagizi be okutandika okwebuuza gye yabuulira,

mwana muwala Doreen Kabareebe eyeekolera erinnya mu nsike y’okumoddola n’okulya obulamu mu Kampala azzeemu okulabika kyokka ku mulundi guno akomeddewo mu kifaananyi kiraala.

 abareebe ngasitudde omwana mu atanga Kabareebe ng'asitudde omwana mu Katanga

 

Kabareebe abamu gwe bajjukirira ku kifaananyi ekyamukubwa ne Joze Chameleone  mu kivvulu ky’Omumerika Sisqo e Lugogo ku kisaawe kya Rugby nga akunamye,

Agamba teyejjuza bulaamu bwe yayitamu kubanga omuntu akula nakyuka ne mu birowooza kale abantu abamu bye bajjukira n'okumwogerako byafuuka bikadde.

“Ebiseera biri naali muwala muto naye kati nkuze  si mubiri gwokka  naye ne mu birowooza era ndi mukyala mulokole.

abareebe ku kkono ne banne nga baddukirira abantu bomu atanga Kabareebe ku kkono ne banne nga baddukirira abantu b'omu Katanga.

 

Obwa moddo bwo si sobola kubuvamu kati kubanga kitone kyange naye kuno ngasseko okukola ekibiina ‘Kabareebe Models 4 charity’ kati mwensizira okuddukira abantu abatalina mwasirizi”.

Kabareebe abeera Abu Dhabi mu UAE gy’akolera mu wooteri emu, mu kiseera kino ali mu ggwanga era nga akolera wamu n’abamu ku bavubuka mu kibiina kye okuli;  Pedro Bugingo, Emmanuel Rukangira Mwuvaneza n'abalala bakyaddeko mu Katanga e Wandegeya ekimu ku bifo ebyenzigotta gye baddukiridde abantu abaweerako n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo omwabadde n’emmeere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...