TOP

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2018

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rem2 703x422

Omufaliso kwe baatadde omulambo gwa Kebirungi (ku ddyo) ne bagukumako omuliro.

ABATEMU bayingiridde omuyizi wa MTAC e Nakawa abadde asoma diguli eyookubiri ne bamusiba emiguwa ku kitanda ne bamusobyako ne baleka nga bamutuze. Abatemu baasoose kumukubira ssimu n’ajja ku ggeeti we baamuwambidde ne bamuzza mu nju mwe baamuttidde.

Bwe bamaze okumutta, ennyumba ye baagikumyeko omuliro okubuza obujulizi kyokka baliraanwa bwe baalabye omuliro ne bakubira poliisi eyazudde omulambo gwa Imacculate Kebirungi nga gusibiddwa ku kitanda gwambuddwa engoye. Kebirungi abadde muyizi ku Management and Advisory Training Center (MTAC) e Nakawa ng’asoma diguli eyookubiri era abadde mukozi mu kitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC).

Vivian Newumbe omwogezi wa NWSC yagambye nti, Kebirungi abadde yaakabegattako wiiki nga ssatu emabega ng’akyali mu kutendekebwa ku ttabi lyabwe ery’e Luzira. Abatemu okuyingira mu muzigo gwa Kebirungi ku Neptune Avenue poloti 21 e Mbuya, ku Lwokuna, tewali wadde muliraanwa eyabalabye era tewali yawulidde wadde enduulu.

Baamutadde ekigoye mu kamwa ne bakola ebyambyone byonna nga tewali awulira. Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro n’okudduukirira abagudde ku bibamba, Joseph Mugisa yagambye nti, abatemu basoose kutta Kebirungi olwo ne bakuma omuliro okubuzaabuza obujulizi.

Okusinziira ku baserikale ba poliisi abaalabye ku mulambo gwa Kebirungi nga tegunnatwalibwa mu ggwanika e Mulago, enkwagulo ne laama z’engalo z’abatemu zaabadde zirabika bulungi ku mubiri gwe. “Omwana baamuttidde mu maanyi, baamusibye emikono n’amagulu ne bamubamba ku kitanda ne bakola byonna bye baagala ne bamutuga ate ne baagala n’omulambo bagwokye”, omu ku baserikale abaatuuse we battidde Bukedde 5 AMAWULIRE Lwamukaaga November 17, 2018 Kebirungi bwe yategeezezza.

POLIISI ERINA W’ETANDIKIRA Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, balina we basobola okutandikira era baakutte abantu basatu babayambeko mu kunoonyereza.

Yagasseeko nti,banoonya muganzi wa Kebirungi, Solomon Okello gwe bateebereza nti yandiba nga alina ky’amanyi ku ttemu lino. Ku Lwokuna akawungeezi, amagye gaakoze omuyiggo oluvannyuma lw’okukizuula nti, Okello yabadde afulumye eggwanga ng’ali Kenya ayagala kudduka. Baakubidde ab’obuyinza mu Kenya essimu Okello n’akwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Jomo Kenyatta Airport.

ENNYUMBA YONNA BAAGITANKUDDE We twatuukidde ku muzigo gwa Kebirungi twasanze bataddewo omukuumi. Emiryango waliwo kalina etannaggwa ate emmanju we wali emizigo w’abadde asula. Munda mu muzigo gwa Kebirungi twasobodde okulingizaamu. Abatemu omuliro baagukumidde ddala ku mufaliso okwabadde omulambo okwanguya okubuza obujulizi.

Ennyumba yonna yabadde etankuddwa nga buli kimu kisuuliddwa waakyo. Omu ku baserikale abakuhhaanya obujulizi yagambye nti, ennyumba baagisanze nzigule. Oluvannyuma lw’okutwala omulambo, baataddewo omuserikale akuumawo era omuzigo gwa Kebirungi gwasibiddwaako akaguwa ka poliisi akalaga nti kifo ekyo wazziddwaawo omusango era tabakkiriza kusaalimbirawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente