TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

By Kizito Musoke

Added 17th November 2018

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Tum2 703x422

Tumusiime Mutebire Gavana wa Bbanka enkulu

ABAKUNGU ba Bbanka Enkulu bamenyeewo ebiwandiiko bye baasooka okuwa akakiiko ka Palamenti akabuuliriza ku bbanka ezaggalwa aka COSASE ne baleeta ebirala bye baagambye nti bye bituufu.

Akakiiko kali mu kubuuliriza ku bbanka musanvu ezaggalwa okuli; Teefe Bank (1993), International Credit Bank Ltd (1998), Greenland Bank (1999), Co-operative Bank (1999), National Bank of Commerce (2012), Global Trust Bank (2014) ne Crane Bank eyagulibwa dfcu mu 2016.

Abakungu abaakulembeddwa Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Tumusiime Mutebile ku Lwokuna beewunyisizza ababaka bwe baasoose okusaba okumenyawo ebiwandiiko na byonna bye baayogera ku bbanka ya Teefe ku Mmande ya wiiki eno. Oluvannyuma baawaddeyo ebiwandiiko bye baayise ebituufu ebikwata ku bbanka ya Teefe eyaggalwa mu 1993 ebikwata ku byobugagga bya bbanka, bakasitoma abaali mu bbanka n’amabanja ge yalina.

Ebiwandiiko byonna byaweerezeddwa mu ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti bongere okubyekenneenya n’okuzuula obutuufu bwabyo. Ku Mmande, Louis Kasekende, amyuka Gavana yali ategeezezza nti mu kiseera ekyo kyali tekibakakatako kusooka kufuna biwandiiko bya bbanka ebyali bibasabibwa.

Kyokka ssentebe w’akakiiko, Abdu Katundu (Bugweri) yakubye ebituli mu biwandiiko ebyabaweereddwa n’ategeeza nti biraga nti banka yaggalwawo mu February ate ng’ekituufu bbanka baagiggala November 4, 1993. Oluvannyuma aba Bbanka Enkulu bakkirizza nti bbanka yaggalwa mu November, wadde ng’ekiragiro ky’okugiggala kyasooka kufuluma mu February.

Moses Kasibante (Lubaga North) yasabye atangaazibwe ku Bbanka Enkulu ne minisita w’ebyensimbi eyali alagidde okuggala bbanka eno kuba okusinziira ku bbaluwa eriko ennaku z’omwezi nga November 2, 1993 yabadde eraga nti minisita ye yaggala bbanka.

Mutebile mu kwanukula yategeezezza nti; “bbanka ya Teefe yaggalwa minisita w’ebyensimbi , ate yo Bbanka Enkulu yakola gwa kuteekako kufulu”. Katuntu yamubuuzizza oba nga mu kiseera ekyo nga November 4, 1993 minisita yalina obuyinza obuggala bbanka. Mutebile yamwanukudde nti obuyinza buno Bbanka Enkulu y’ebulina, kyokka ng’erina kusooka kwebuuza ku minisita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Jip1 220x290

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa...

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Kut2 220x290

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro...

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu