TOP

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2018

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Kab2 703x422

Museveni ng’assa omukono ku kkaadi y’okutongoza bbasale z’abaana b’e Bunyoro, Minisita w’ebyenjigiriza , Janet Museveni (mu nkofiira) yabaddeyo. Wansi Museveni ng’awuubira ku bakulembeze abava mu kitundu ky’e Bunyoro.

PULEZIDENTI Museveni atongozza enkola Gavumenti mw’egenda okugabira abayizi bbasale eziwera 600 abali mu disitulikiti 13 ezisimibwamu amafuta. Yasinzidde ku mukolo ogwabadde mu kibangirizi kya Boma Grounds mu munisipaali y’e Hoima ku Lwokuna n’atongoza enkola eyatuumiddwa Albertine Region Sustainable Development Project (ARSDP).

Enkola eno egenda kumala emyaka etaano ng’egenda kumalawo obuwumbi 541 ng’eteekebwamu ssente Bbanka y’Ensi yonna. Abaana abagenda okufuna bbasale bali mu disitulikiti okuli; Nebbi, Nwoya, Buliisa, Masindi, Kiryandongo, Hoima, Kibaale, Bunyangabu, Kakumiro, Kagadi, Kyenjojo, Kabarole ne Ntoroko.

Museveni eyabadde awerekeddwaako minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni yakubirizza abantu b’e Bunyoro okwagazisa abaana baabwe enkola eno kuba ejja kubayamba okubangulwa mu bintu eby’enjawulo kibayambe n’okufuna emirimu. “Nkubiriza bannabyabufuzi, bannaddiini, ab’ebyobuwangwa, abazadde n’abantu bonna okukozesa omukisa guno basobole okufuna obukugu obw’enjawulo.

Bbasale ezigenda okugabibwa mulimu okusomesa eby’obuzimbi, eby’amafuta, okukanika, ebyamasannyalaze, okukanika emmotoka n’ebirala. Abayizi abalina okusaba balina okuba nga balina ebbaluwa ya S.4 era nga babadde batuuze mu disitulikiti ezo okumala emyaka waakiri etaano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...