ABATUUZE ku kyalo ky’e Kaayi e Kawanda bagguddemu ekyekango mutuuze munnaabwe bw’asangiddwa ng’afiiridde mu dduuka lye.
Royce Ssanyu 25, abadde omutuuze w’e Kawanda yafiiridde mu “kiyosiki” mwabadde yateeka akadduka. Omulambo gwa Ssanyu gwalabiddwa abatuuze abaakedde okujja okugula ebintu ku dduuka lye.
Abantu bakira bamuyita nga teri kanyego nga n’essimu ye tagikwata kwe kumenya oluggi. Mu kayumba mwasangiddwaamu ssigiri nga kiraga nti yabadde afumba mazzi ebbugumu ne limuyitirirako ekisuubirwa nti yafudde kiziyiro.
Alex Sembatya omutuuze mu kitundu yagambye nti enfa ya munnaabwe tematiza nga poliisi yeetaaga okwongera okukola okunoonyereza okumala okuzuulira ddala ekyamusse.
Atwala poliisi y’e Kawanda Emily Nebokhe yasabye abatuuze okwewala okufumbira mu mayumba gaabwe okwewala okufuna obuzibu. Omulambo poliisi yagututte mu ddwaaliro e Mulago okugwekebejja okuzuula ekituufu ekyamusse