TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Carol Nantongo bamukoledde akabaga k'amazaalibwa. Akaabye olw’essanyu

Carol Nantongo bamukoledde akabaga k'amazaalibwa. Akaabye olw’essanyu

By Martin Ndijjo

Added 18th November 2018

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Ka1 703x422

Carol Nantongo ng'akaaba

Abawagizi b’omuyimbi Carol Nantongo abeeyita ‘Team Carol Nantongo’ nga bali wamu ne maneja we Michael Judas be bamukoledde akabaga okujjaguza amazaalibwa ge.

Akabaga kano k’oyinza okwogerako nga aka ‘kiraasi’ kabadde tasuubira kubanga bakamusuddeko  kabadde ku Pearl Of Africa Hotel e Nakasero.

antongo owokubiri ku kkono ne maama we nga basala keekiNantongo (ow'okubiri ku kkono) ne maama we nga basala keeki

 

Bamuleese bamulimbye nti agenda kuyimba ku mukolo gwa mbaga era olubadde okutuuka ku wooteri ne bamuwa omuzinddaalo ssaako ne Dj okusulamu oluyimba lwe.

Wano Nantongo yatandise okuyisamu amaloboozi nga atambula bw’ayimba okuva emabega kyokka olwabadde okutuuka mu maaso abantu we batudde okwetegereeza ng’alaba bawagizi na mikwano gye.

Yasoose kunyiga nga bwakolimira maneja we okumuyimba kyokka mubwangu bamuyimbidde ennyimba ezimuwaana n'akaaba olw’essanyu n’omukwano gwe bamulaze.

 antongo aritas ario evixone ne r ilderman nga bazina Nantongo, Karitas Kario, Levixone ne Dr. Hilderman nga bazina

 

Mukwogera,  Nantongo yeebazizza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu n’asiima maama we n'abawagizi be mu ggwanga abamufudde ky’ali era n’abasuubiza okubayiiyiza nga ebyo bye bagala n’obutabaswaza kyokka yaganye okwogera emyaka gyawezezza nga agamba abakazi tebogera myaka.

 antongo nga bamusiga keeki Nantongo nga bamusiga keeki

 

Akabaga kano keetabiddwako abayimbi abalala okwabadde; Karitas Kario, Levixone ne Dr. Hilderman eyamubuliridde obutesembereza abantu abatamugasa n’obutakirizza oba okusirikira abbo abagezako okumwoonera erinnya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...