TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Boongedde okuzuula obujulizi ku bayokezza essomero e Raka

Boongedde okuzuula obujulizi ku bayokezza essomero e Raka

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Boongedde okuzuula obujulizi ku bayokezza essomero e Raka

Hab2 703x422

Jjajja wa Nsubuga, Mary Musoke Nalukwago ( ku kkono) ng’ali

Aba serikale abanoonyereza ku batemu abaasibidde abayizi mu kisulo ne bakikumako omuliro bongedde okufuna obujulizi obubatuusa ku baakoze ekikolwa kino ekyalese abazadde mu maziga.

Mu bujulizi bwe bafunye mwe muli n’obw’omutuuze w’e Mannya eyabategeezezza nti yawulidde abaayokezza abayizi nga bakaayana oluvannyuma lw’okukuma omuliro ku kisulo ky’abayizi ba S.3 aba St. Bernards S.S Mannya mu disitulikiti y’e Rakai. Bambega abanoonyereza ku musango guno mulimu ab’ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO nga bakolaganira wamu ne poliisi n’amagye.

Ensonda mu Internal Security Organisation (ISO) zaategeezezza Bukedde nti baasoose kwaza nnyumba egambibwa nti abatemu mwe baava era ng’eno eri mu Kabuga k’e Mannya oluvannyuma ne balyoka bafuna obujulizi bw’omusajja eyawulira abatemu nga bakaayana. Amannya g’omujulizi ono gakyakuumibwa nga ga kyama olw’obujulizi obw’enkizo bw’alina obuyinza n’okumuteeka mu buzibu ng’abatemu bamutegedde.

Omujulizi ono asula kumpi n’ennyumba egambibwa okuba nti abatemu mwe baakolera olukwe lw’okutta abayizi era bwe baamaliziza okuteekera abayizi omuliro badduka ne bakomawo mu nnyumba eno gye bamaze akaseera nga bapangisa.

NNAWULIRA ABAA YOKYA ABA YIZI NGA BA KAAYANA Omujulizi ono yattottoledde bambega bye yawulira byonna mu kiro ekyakeesa Mmande lwe baayokezza abayizi era kkumi ne bafa ate abalala bakyajjanjabwa olw’ebisago by’omuliro bye baafuna.

Omujulizi ono yategeezezza bw’ati: Essaawa zaali mu 5:00 ez’ekiro ku Ssande; nnali ndi mu nju yange, nga nteekateeka kugenda kwebaka. Nnawulira emisinde ng’abantu balinga abajja badduka kyokka nga tekuli ayogera. Baggulawo oluggi lw’ennyumba enninaanye era ne nkitegeera nti abavubuka ababadde bagibeeramu be bakomyewo

. Wabula nnasiga nneewuunya lwaki bazze badduka era ne kimpaliriza okulumika okumanya ekituuseewo. Bwe baamala okwesibira munda ne batandika okukaayana.

Nnawulira amaloboozi asatu (3) ag’enjawulo mu kukaayana okwo. Omu ku bbo yalina endowooza ya njawulo era ye yavaako okukaayana. Yali agamba banne nti; “Kye tukoze tekiriiyo….. tugende tubuggulire buleme kufiiramu.” Banne ababiri ekyo baali bakiwakanya nnyo nga bagamba nti basobola n’okubakwata nga bagenze okuggulawo.

Omujulizi ono agamba nti mu kusooka teyasooka kumanya bavubuka abo bye baali boogerako, wabula yatandika okubiggyamu amakulu ng’enduulu etandise, abantu bonna mu Kabuga Mannya ne bava mu mayumba okugenda okudduukirira abayizi be basibidde mu kisulo ne bakyokya.

Omujulizi oyo yoomu ku badduukirira ekiro ekyo, kyokka nti abavubuka abo tebaalinnyawo. Abavubuka nti yali abamanyi era yafuba okwetegereza okulaba oba batuuka mu kudduukirira naye teyabalabawo. Oluvannyuma yaddayo era n’awalirizibwa okutuuka ku muzigo gw’abavubuka abo naye nga beesibidde munda beebase.

Obujulizi buno bwongera kusonga ku bavubuka abaagobwa mu ssomero era bambega bagamba nti bye baakakung’aanya biraga nti ekirowoozo ky’okwokya kyava mu muyizi enzaalwa y’e Tanzania eyali agobeddwa obutaddamu kulinnya ku ssomero eryo.

Nti kino baalina kukikola mabegako nga baakagobwa, wabula baasalawo basooke bamalirize ebigezo byabwe ebya S.4 era munnaabwe omu yekka ye yali akyabuzaayo ekigezo kimu; era oyo yakikoledde ku mpingu nga bamuggya ku poliisi gye yaggaliddwa.

Abaakwatibwa kuliko n’abasomesa abaali baagobwa olw’obutakkaanya obw’amaanyi bwe baalina n’omukulu w’essomero Henry Nsubuga nga buva ku kubagaana kusomesa mu masomero amalala wamu n’enkwata ya ssente. Bambega banoonyereza okuzuula oba mu kwokya, waaliwo ekkobaane n’abasomesa.

Banoonyereza ne ku bintu ebirala omuli eby’entalo n’okuvuganya kw’amasomero, entalo za ssente z’abagabi b’obuyambi ku ssomero eryo kw’ossa n’ebikolwa by’ekitujju ebirimu okusekeeterera nga bwe gwali ku kwokya ettendekero ly’e Kichwamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.