TOP

Bamukutte lwa kweyita wa poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Bamukutte lwa kweyita wa poliisi

Hop2 703x422

Ejakaiti

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata omusajja abadde yeeyita omuserikale n’aggya ssente ku bantu ng’abasuubiza okubayingiza mu poliisi. Simon Peter Ejakaiti ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’abantu be yagyeeko ssente okwekubira enduulu eri poliisi nga bagamba nti waliwo abaggyako ssente ng’abalimbye okubayingiza mu poliisi.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Vincent Ssekate yagambye nti, Ejakaiti abantu abalimba nti akolera mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ng’alina obusobozi okubayingiza mu poliisi.

Yagambye nti Ejakaiti alina banne b’akolagana nabo ng’abba abantu b’abadde aggyako wakati wa 80,000/- ne 100,000/- nga n’abamu babadde bazimusindikira ku ssimu.

N’agamba nti okumukwata baalondodde essimu gye yawa abantu kwe babadde bamuweereza ssente nga baamukwatidde . Ennamba gy’abadde yabawa abadde abalimba nga bw’eri ey’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga.

Baamugguddeko omusango ku fayiro nnamba GEF 982/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Baasabye abantu be yabba okutuukirira poliisi basobole okugiyamba mu kunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup