TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka bakubaganye empawa ku byapa ebyali mu Teefe Bbanka

Ababaka bakubaganye empawa ku byapa ebyali mu Teefe Bbanka

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Ababaka bakubaganye empawa ku byapa ebyali mu Teefe Bbanka

Hop2 703x422

Gavana Mutebile ( ku ddyo) mu kakiiko,

ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko akabuuliriza ku nsasaanya n’enzirukanya y’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE kongedde okuteeka ku nninga abakulira Bbanka Enkulu nga baagala balage ebyapa ne ssente z’abantu abaali batereka mu bbanka ya Teefe gye baggala mu 1993.

Aba Bbanka Enkulu abaakulembeddwaamu, Gavana Emmanuel Tumusiime Mutebile baategeezezza nti baalanga emirundi ebiri nga bayita abantu abaalina ssente mu Teefe era ne basasula obukadde 336. Kyokka waliwo obukadde 48 ze baasigaza nga na kati bakyazikuumye nga za bantu abataalabikako.

Medard Seggona yalumirizza nti waliwo abantu bangi abaalina ssente mu Teefe, abaalaajana okubasasula, kyokka ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala lwago abataanona ssente zaabwe.

Ababaka baabuuzizza oba nga balina essuubi ly’okusasula abaasigalira, Margaret Kaggwa munnamateeka wa Bbanka Enkulu n’ategeeza nti eby’okusasula ssente zino byazibuwala olw’okuba waliwo kkampuni ya Balintuma Bus Co. abaawawaabira Banka Enkulu ne bbanka ya Teefe.

Yagambye nti okuggyako ng’omusango guno ogumaze emyaka 15 mu kkooti nga guwedde okusalibwa, kijja kubazibuwaliza okubasasula. Kyokka Abdu Katuntu (Bugweri ) yalabudde ku buzibu obuli ku kulwawo okusasula abantu ssente, n’ategeeza nti ssente zeeyongera okunaabuuka buli olukya. Aba Bbanka Enkulu baaleese olukalala lw’ebyapa 23 bye bagamba nti byali mu bbanka ya Teefe nga waliwo abantu abaali beewoze ssente ne babisingayo.

Ebimu ku byapa ebyaleeteddwa kuliko; Block 48 plot 22 Busiro mu mannya ga Bigombe Musoke, block 136 plot 21 Kyaggwe nga kiri mu mannya ga Magala, block 82 plot 299 Kungu mu mannya ga Park View Pharmacy D.C Ltd. Ebyapa bino aba Bbanka baagambye nti si bya Teefe era mu kiseera kino babiterekedde bannyini byo. Kyokka ababaka ebyapa ebimu baabikubyemu ebituli oluvannyuma lw’okuwabulwa abakola mu ofiisi y’ebyettaka nti bbulooka nnamba ezimu tezaabadde ntuufu, kyokka ne basuubiza okwongera okunoonyereza.

Ababaka era baatadde ku nninga aba Bbanka Enkulu nga baagala babawe olukalala lw’ebyobugagga byonna bye baasanga ne Teefe nga tebannaba kugiggala. Wadde ng’aba bbanka baagambye nti baabalirira eby’obugagga, naye baalemeddwa okuleeta ebintu byonna mu bujjuvu.

Bbanka ya Teefe ababaka baamalirizza okugibuulirizaako ku Lwokutaano era wiiki ejja basuubirwa okutandika okubuuliriza ku banka endala ezaggalwa okuli; International Credit Bank Ltd (1998), Greenland Bank (1999), Co-operative Bank (1999), National Bank of Commerce (2012), Global Trust Bank (2014) ne Crane Bank (CBL) eyaguzibwa dfcu bank (2016).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...