TOP

Babayodde lwakusuula bubizzi ku Bbanka enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Babayodde lwakusuula bubizzi ku Bbanka enkulu

Kop2 703x422

Poliisi ng’ewalabanya abavubuka abaakwatiddwa.

POLIISI ekuutte abavubuka abeegattira mu kibiina kya Jobless Brother Hood bwe baabadde bazze okweyanjula ku poliisi kyokka ne bajja nga bambadde obukookolo bw’emitwe gy’embizzi.

Robert Mayanja ne Augustine Ojubire be baakwatidwa poliisi ya CPS bwe badde bazze okweyanjula ku poliisi ku misango gyokusuula obubizzi ku Bbanka Enkulu. Abavubuka bano nga November 5, omwaka guno baasuula obubizzi ku Bbanka Enkulu nga bali ne bannaabwe abalala nga balumiriza abakulu mu Bbanka eno okwekkusa bokka mu ngeri abavubuka bano gye baayita okulya ng’embizzi.

Bagamba nti babadde baagala poliisi ereme kwonoona biseera ng’ebanoonya noolwekyo kwekwereeta ku poliisi baggulweko emisango gye bazza kyokka poliisi teyabaganyizza ne bazingiza ne bayoola.

Baakwatiddwa ne batwalibwa mu kadukulu ka CPS wakati mu kulwanagana nga bambadde obukookolo n’okweyiira birangi bye baayise omusaayi era baabadde beesibye emitwe gy’embizzi mu bulago. Jobless Brother Hood bagamba nti balwanirira kulaba nga balwanyisa obuli bw’enguzi n’okukozesa obubi ofiisi ebisukkiridde ennyo mu bbanka za Uganda okulaba nga waliwo ekikolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano