TOP

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda

Seb2 703x422

Omugenzi Nebanda

ABABAKA battukizza okubanja lipooti y’okubuuliriza ku nfa y’eyali omubaka omukyala w’e Butaleja mu palamenti, Cerina Nebanda 24, eyafa mu ngeri etaategerekeka mu December 2014.

Mu lutuula lwa palamenti eyakubiriziddwa Sipiika Rebecca Kadaga, Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda yateereddwa ku nninga annyonnyole wa lipooti y’okufa kwa Nebanda eyasuubizibwa eyali Ssabalamuzi Benjamin Odoki gye yadda.

Byakoma wa ? Baako ky’oyogera.’’ omubaka wa Jinja Municipality East , Paul Mwiru (FDC) bwe yatadde Rugunda ku nninga. Wabula Rugunda yagambye nti agenda kutegeeza minisita akwatibwaako ensonga zino abuulire palamenti gye byakoma.

Kyokka teyawadde lunaku. Enfa ya Nebanda yaleetera abamu ku abasawo okugenda mu ddwaliro e Mulago okubeerawo ng’omulambo gwe gulongoosebwa okuzuula ekyavaako okufa kwe.

Eyali omusawo alongoosa emirambo, Dr. Onzivua yakwatibwa ku kisaawe e Ntebe ng’agezaako okutwala ebimu ku bitundu by’omulambo gwa Nebanda ebweru okwongera okukakasa ekyavaako okufa kwe.

Nebanda wadde yali wa NRM yali akyukira gavumenti ebiseera ebimu n’agissa ku nninga. Eyali omuduumizi wa poliisi mu kiseera ekyo, Gen. Kale Kayihura yagamba nti okufa kwe kwali kwekuusa ku kukozesa ebiragalalagala.

Kyokka kino abamu baakiwakanya ne bakusiba ku gavumenti. Pulezidenti Museveni yavaayo n’ategeeza nti ssi nkola ya NRM okutta abagiwakanya n’ategeeza nti tewali nsonga yandittisizza Nebanda.

Eyali muganzi wa Nebanda, Adam Suleiman Kalungi,yakwatirwa e Kenya ng’agambibwa nti ye yali amuwadde ebiragalalagala era yakomezebwawo mu Uganda n’atandika okuwerennemba n’omusango gw’okuvaako okufa kw’omubaka.

Mu Febuary 2014, Adam Suleiman Kalungi,yasingibwa omusango gw’okuvaako okufa kwa Nebanda era n’aweebwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka ena. Eyali omulamuzi mu kkooti y’e Makindye Esta Nambayo yagamba nti obujulizi kkooti bwe yafuna bwali bulaga nti enfa ya Nebanda yali yekuusa ku kunywa omwenge n’ebiragalalagala ebirala ebyaleetera ebitundu by’omubiri gwe eby’omunda okulemererwa okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi