TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Ken1 703x422

Burora (ku kkono) ng’alaga abatuuze, Kiwanuka agenda okugira ng’akola obwa ssentebbe.

OMUBAKA wa Pulezidenti mu munisipaali y’e Nakawa, Anderson Herbert Burora ayimirizza emirimu gya ssentebe wa Zooni y’e Kinnawattaka mu muluka gw’e Mbuya okutuusa lwanaamaliriza okugonjoola obutakkaanya bwalina ne gwe yavuganya naye eyamutwala mu kkooti.

Burora ayimirizza Yafeesi Lukwitira, mu lukiiko lwe yatuuzizza mu kitundu kino nga kiddiridde okubalukawo kw’entalo mu batuuze nga bawakanya obukulembeze bwa Lukwitira nga bagamba nti bo tebamulondangako era bo bamanyi Siraji Higenyi nga ye Ssentebe waabwe.

Burora yagambye nti obumenyi bw’amateeka buzzeewo mu kitundu kino nga buva ku bantu babiri abakaayanira entebe ya ssentebe era ng’ensonga zino zatwalibwa mu kkooti e Nakawa okusobola okuzigonjoola.

Agambye nti woofiisi ye terina buyinza bulagira kuddamu kulondesa ate nga waliwo n’omusango ogwatwalibwa mu kkooti. Bwatyo yasazeewo okuyimiriza emirimu gya ssentebe Lukwitira okutuusa nga November 26,2018 lwe banaddamu okutuuza olukiiko mu kitundu kino.

Alagidde ssentebe wa LC2 ow’omuluka gwa Mbuya 1 Lawrence Kiwanuka okuddukanya emirimu gya ssentebe wa Kinnawattaka era y’agenda okuvunaanyizibwa ku kuteekawo akakiiko kebyokwerinda kebyokwerinda akagenda okukuuma ekitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi