TOP

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

By Dickson Kulumba

Added 18th November 2018

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Mal1 703x422

Omwami n’omukyala Bamalokweza

TOFIRI Kivumbi Malokweza yasaba Katonda amuwangaaze emyaka 55 n’endowooza nti tayagala kusunguwalira bantu be n’abaana be olw’obutamujjanjaba, obutamulambula n’okumuwa ebyetaago kyokka amutendereza olw’okuba nti amuwangaazizza okutuuka kumpi okukubisaamu egyo gye yamusaba.

Anyumya ku bwatambuzza obulamu bwe okutuuka ku myaka 90 ng’akyali mugumu era aweereza: “Nazaalibwa nga September 18, 2018 ku ssaawa bbiri ez’ekiro e Kyoko mu ggombolola ya Ssaabawaali Bukoto e Masaka mu Buddu.

Nasaba Katonda emyaka 55, obutanyiiza baana bange naye Katonda n’akkiriza n’annyongera emyaka mingi okutuuka okukubisaamu gye namusaba era mmutendereza buli kiseera,” Malokweza nga ye Kaggo eyawummula bw’ayogera ku bulamu bwe.

Nga September 18, 2018, abaana be baamukoledde akabaga ak’okwebaza Katonda olw’okumuwangaaza emyaka 90 nga baakatadde ku Protea Hotel e Nakasero mu Kampala oluvannyuma lw’okusaba ku Klezia ya Yesu Kabaka mu Kampala okwakulemberwamu Msgr. Gerald Kalumba ne Msgr. John Bapist Ssebayigga.

 amalokweza nga basala keeki eyamazaalibwa ge agemyaka 90 eyawundibwako ebifaananyi bya famire ye nebibye ebyobuweereza bwakoze Bamalokweza nga basala keeki ey’amazaalibwa ge ag’emyaka 90 eyawundibwako ebifaananyi bya famire ye n’ebibye eby’obuweereza bw’akoze.

EBINNYAMBYE OKUWANGAALA   

1 Ng’ayogera ku bimu ku bimuyambye okuwangaala, Malokweza yategeeza nti Katonda amuyambye nnyo kubanga ye kamanda w’obulamu era afuga buli kimu kyokka n’okufaayo okukwata amateeka ga Katonda n’ag’ensi, bimuyambye okutambula obulungi mu bulamu.

2 Ekirala endya yange njawufu nga nneewala okulya ebisiike. Ndya ebintu ebikaawa okuli enva endiirwa ng’ejjobyo, entula, katunkuma n’ebirala.

3 Obutayitiriza masanyu ga nsi, omukyala alina okuba omu.

4 Okukola ennyo nakyo kiyamba obulamu kubanga obeera obuwa eky’okukola ng’omusaayi gutambula. Lumu natambulako okuva e Kakuuto okutuuka e Masaka.

5 Okukola dduyiro nakyo kirungi. Nsobola okukola nga nnyimiridde okumala ebbanga ddene nga sikooyeemu n’akamu.

6 Okwebaka mu budde kikulu nga kikuyamba okuzuukuka amangu okukola emirimu.

ENGERI GYE MPITA MU LUNAKU Bwe yabuuziddwa olunaku lwe bwe lubeera, yategeezezza nti kuva dda ekinene ennyo, ssaawa 12 ez’oku makya zisanga azuukuse n’atandika okukola emirimu gye. Annyonnyola nti, “Nzuukuka ssaawa 12 buli lunaku ne nnaaba amazzi amabisi nga kino nkikoledde kati emyaka 30 era n’ekyuma ekigabugumya kye nali ntadde mu nju, nakiggyamu.

Nagendanga ku Klezia eya St. Kizito e Bwaise okusaba ku 12:30 wadde kati olw’emyaka sikyakisobola kukeera buli lunaku nkikola lwa bumu. Wabula ku lwa Ssande nteekwa okubeera mu kusaba okuggyako nga waliyo emikolo.

Oluva mu Klezia nfuna ekyenkya olwo ne ηηenda mu mirimu egy’obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okuli egya Kabaka ate n’egya Klezia emirala. Nneetaba ku mikolo ate n’okulondoola emirimu gyange egy’obuntu okutuusa olunaku bwe luggwaako ku ssaawa ttaano ez’ekkiro.

Omuntu okubeerako by’atuukako mu bulamu bw’ensi asaanye okubeera n’enteekateeka kw’agerera obudde mw’akolera emirimu nga kino kimuyamba okuyitimuka mu mirimu gy’akola ku nsi.

Mu kiseera kino nsinga kwemalira ku mirimu gy’obwannakyewa okuli okubeera ku bukiiko obw’enjawulo obw’obwakabaka ne Klezia. Nze omu ku bali ku lukiiko olutalaaga Obwakabaka okulondoola emirimu egikolebwa mu masaza ag’enjawulo omuva omukolo omunene ogwa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Kabaka mw’agendera mu Ssaza eribeera lisinze mu buweereza.

Ku myaka 90, nkyasobola okwevuga okugenda e Mmengo n’e Lubaga ku Klezia n’ebifo ebirala gye mbeera nnina okugenda okwetaba ku mikolo ssinga anvuga abeera afunyeemu ebimukutte.

Pamiti yange kwe nvugira mmotoka eyinza okuggwaako omwaka ogujja kyokka simanyi oba bakyayinza okugizza obuggya! Mukyala wange, Mary Ruth Ndagire Malokweza y’omu ku bantu be nneenyumirizaamu olw’okumbeera ku lusegere mu buli kimu kye mpiseemu mu bulamu bw’ensi eno ng’ampabula, n’okumbudaabuda,” Malokweza bw’agamba.

 amalokweza nabamu ku mikwano gyabwe Bamalokweza n’abamu ku mikwano gyabwe.

 TAATA YATUSIGAMU ENSIGO Y’OKUKOLA SSENTE Joe Kivumbi, eyakulira banne okutegeka omukolo guno yategeezezza nga kitaabwe bwe yabasigamu ensigo eya ssente noolwekyo nga nabo babadde balina okukola kye basobola okumutegekera okujaguza kw’amazaalibwa ge: Twebaza Katonda nti, tusanyukidde wamu naawe ku mazaalibwa go ag’emyaka 90. Tumwebaza nti akukuumye ng’olina embeera y’omubiri ennungi n’aba ng’atuwadde omukisa ffe abaana bo okuba nti tuva mu ggumba lyo.

Weebale okutuyigiriza okukola era tukwebaza nti otukulizza mu kifaananyi buli omu ky’atulabiramu ekirungi nga kiva ku ggwe. Taata watusigamu ensigo eya ssente nga kati buvunaanyizibwa bwaffe okukukolera ebyo by’oyagala. Nneebaza bannange bonna okusingira ddala muganda waffe omu Buddha nga ye Steve Kaboggoza ng’ono ye Mumonko eyasooka mu nzikkiriza eno mu Afrika, olw’ebyo bye yakola mu kujaguza kuno.

EBIRALA EBIMUKWATAKO Bakadde be ye, Yoana Kizza Kivumbi Bawemukira Ataafe ne nnyina Zerida Namatovu Basasira nga yabatizibwa October 11, 1928. Gye yasomera:  1939 - 1942 (P.4) yali ku Ssenya P/S.

1942 (P.6) yasomera ku Kyamaganda P/S  1945 - 1948, Kisubi St. Joseph Technical Institute n’afuna satifi keeti mu by’okubajja.  Yeeeyongerayo okutendekebwa mu kukuba bbulooka.

EMIRIMU GYE “Mu January 1949, nafuna omulimu e Buddo College Maintenance Section. Nasembebwa okugenda ku ddwaaliro e Namirembe nga waliyo ebizimbe ebyali bizimbibwayo ne mbeera nampala w’omulimu gw’okuzimba ekizimbe kya bannakawere. Omulimu gw’obuzimbi ngukoledde ebbanga ddene ate n’obukugu ng’emirimu gye nkozeeko gyeyogerera yonna gye nagikolera.

Mu 1950 - 1952 nalinga ne munnaddiini Omungereza Rev. Minichin Clerk, naddaabirizaako Lutikko y’e Namirembe nga tussa enkyukakyuka munda. 

Taata yatusigamu ensigo ya ssente     

Nga ndi Namirembe, bantumanga n’okuyambako ku Bishop Tucker e Mukono mu kuddaabirizaayo.

Mu 1952, naggulawo kkampuni y’obwannannyini enzimbi eyitibwa Malokweza Building Company & Contractors. Katonda yampa omukisa ne nfuna emirimu mingi. E Ndejje mu ggombolola y’e Nnyimbwa, Bulemeezi, nazimba ebizimbe bibiri ku Nnaalinnya Lwantale Girls P/S n’okuddaabiriza ebikadde.

Okuva 1999 n’okutuusa kati mbadde ku mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza olukomera ku kiggwa ky’abajjulizi e Namugongo. March - May 2001 nafuna omulimu gw’okuddaabiriza oluguudo oluva e Maddu - Musozi mu Gomba.

OBUWEEREZA MU KLEZIA

Mu buweereeza bwange mu Klezia, wakati wa 1971 - 1979 naliko Ssaabakristu e Jinja Kalooli, Ssaabakristu wa St. Kizito e Bwaise, Ssaabakristu wa Christ The King Deanery ng’etwala ebigo 12.

Naweerezaako nga Ssentebe w’olukiiko olufuga Kazo Buganda Kingdom P/S okumala emyaka etaano. Mu 1987 naliko Ssentebe wa Kagoma SS. Nafuuka Ssentebe w’abaasomerako e Kisubi n’okutuusa kati mbadde ku lukiiko olufuga ettendekero ly’ebyemikono e Kisubi.

Nali ku lukiiko olufuga eddwaaliro ly’e Kisubi olwasooka ng’Abazungu bagenze. Mu 2005 - 2011 nalondebwaku lukiiko olufuga Lubiri Nnabagereka P/S era n’okutuusa leero nkyaluweererezaako.

Okuva 1999 - 2008 nalondebwa okubeera mmemba wa bboodi etwala Emmanuel Kazi era nkyali ku lukiiko luno. Okuva mu June 24, 1999 - 2013, Kabaka yasiima mpeereze nga Kaggo (omwami wa Kabaka atwala Essaza ly’e Kyadondo nga lino lirina ebitundu bya Kampala byonna n’ebimu ebitwalibwa disitulikiti y’e Wakiso). 

EBIRALA BY’AKOZE 

Y’omu ku baakola ku nkyukakyuka ezimu ku Basirika y’e Namugongo. l Yakola enkyukakyuka ku kasolya k’ennyumba ya Ssaabasumba e Lubaga. l Yaliko Ssentebe w’olukiiko oluzimbi ku kuzimba Klezia ya St. Matia Mulumba e Kampala - Mukadde ne Fr. Mayor.

Mu 1990 yakulira omulimu gw’okuzimba klezia ya St. Kizito e Bwaise.

Y’omu ku baatuula nga bakola ku nteekateeka eyitibwa Obutume bw’Omukatoliki mu ssaza ly’e Kampala. Omukolo gw’amazaalibwa ge gwetabiddwaako eyaliko Katikkiro wa Buganda, Ying. JB Walusimbi, minisita omubeezi ow’abantu ba Buganda ababeera ebweru, Charles Bwenvu. Eyaliko Minisita e Mmengo, Vicent Bbaale Mugera ne Nnaalinya Sarah Kagere. Bannakatemba, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....