TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2018

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Wab1 703x422

Abaana nga bazannya.

ABAANA bwe bakula batera okubeera n’emize nga buvunaanyizibwa bwa muzadde okumuluηηamya okugimuggyamu n’asobola okubeera omuntu ow’obuvunaanyizibwa ate nga wa ggonjebwa ng’akuze.

Egimu ku mize abaana gye bafuma mwe muli obuggya eri mwana munne oba omuntu omulala yenna. Yasin Ssewankabo, kansala w’abaana n’amaka okuva ku CAN’ Africa Foundation e Najjanankumbi yagambye nti obuggya omwana abufuna okuva obuto omuze ne gugenda nga gukula.

Oyinza okulaba omwana nga muto nga tayagala mwana mulala kuliraana maama we oba kukwata ku kintu kye. Abamu bw’oba olina gw’owadde ekintu akimuggyako kubanga ayagala buli kintu kibeere kikye.

Ggwe ng’omuzadde olina okutandika okumuggyamu omuze guno ng’akyali muto. Ssinga tokikola weesanga nga akula nga n’omuze bwe gukula. Bano oluusi b’olaba nga batuusizza obuvune ku bannaabwe oluusi n’okubatta nga bakuze. Okuggya obuggya mu mwana oyinza okukozesa engeri ez’enjawulo omuli;

  1. Eddiini kintu kikulu mu nkuza y’omwana kubanga eyamba omwana okukula ng’alina empisa era nga muntu mulamu. Omwana bw’atandika okutegeera n’okwogera kyangu okumusomesa eddiini n’amanya kyeragira era ne ky’agifunamu.
  2. Olw’okwagala okufuna empeera ajja kukola eddiini by’eragira okukkakkana ng’atandise okukolagana obulungi ne banne.2. Okuyambagana: Abaana okuva obuto bayigirize okuyambagana mu mirimu gye bakola awaka. Buli omu muwe omukisa okukola ku mirimu gyonna ate omu bw’akaluubirirwa osabe omulala amuyambeko mu mutima omulungi. Omulala tajja kukyawa munne kubanga amuyambyeko. 3. Omuzadde olina okuwa abaana obudde n’omanya endowooza zaabwe ne kikuyamba okubawabula ssinga wabaawo obuzibu. Abaana batera okubeera n’enkaayana bw’otazanguyira kuzigonjoola ziyinza okugenda nga zikula. Mu mbeera eno olina okuwuliriza buli ludda n’obawabula mu mazima n’obwenkanya. 4. Weewale ng’omuzadde okubaako omwana gw’owolereza. mu buli mbeera weewale okugamba nti ono y’asobola okukola ky’oyagala abalala n’obalemesa okubaako kye bakola. Abaana bwe bamanya nti oliko gw’oyagala bayinza okufuna obuggya ne bamuwalana era ne beeyawula. 5. Wabula oluusi oyinza okubaleka ne beetereeza ssinga babaako kye bakaayanira. Wabula olina okubawuliriza n’omanya bwe bamalirizza. Mu mbeera eno oluusi bajja kuyiga engeri gye balina okukwatagana okwewala enkaayana endala eziyinza okuvaako enjawukana. 6. Abaana bayigirize okwerekereza. Balina okumanya nti mu nsi temusobola kufaanagana mwenna oba okufuna buli kintu kyenkanyi. Kale ne bw’atafuna ku luno tomanya olulala ayinza okufuna. Talina kukitwala nti tebamwagaliza kubanga kiyinza okuvaako obuggya eri omulala. 7. Fuba ng’omuzadde bw’oba osobola abaana okubakolera ebintu ebifaanagana nga okubagulira engoye ze zimu, okubatwala ku masomero ge gamu. Okusobola okumalawo enkaayana ng’olumu alaba munne amusingako. 8. Okusiima abaana kintu kikulu ate buli omu so si ku bamu. Kino kiyamba okubazzaamu amaanyi n’obutalaga nti olina omu gw’oyagala oba gwe weekubiirako oludda. Kibongera amaanyi okusobola okukola ebisingawo. 9. Bakubirize okuzannya bonna era obalage nti ky’oyagala. Buli lw’olaba eyeeyawudde mukubirize okubeera ne banne. Kiyamba okukolagana obulungi ne batafuna buggya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo