TOP

Bamukutte n’akawanga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde akapakidde n’ebisigala by’omufu ng’agenda nabyo ku bodaboda.

Skull 703x422

Lubaale n'akawanga.

Bya TOM GWEBAYANGA
 
OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde akapakidde n’ebisigala by’omufu ng’agenda nabyo ku bodaboda.
 
John Lubaale 38, ye yakwatiddwa n’ebisigala by’omugenzi Sulai Tigawalana eyali omusawo w’ekinnansi ng’ate yali mukwano gwe nfiirabulago eyafa emyaka 6 emabega. Baamukwattidde mu kabuga k’e Nawanyago ku luguudo lw’e Kamuli - Jinja.
 
Lubaale omutuuze w’omu kibuga ky’e Buwenge, amalaalo g’eyali musawo munne yagasimudde ku kyalo Nawansaso mu ggombolola y’e Kitayunjwa mu disitulikiti y’e Kamuli, ekyesudde kkiromita nga 40 okuva ewuwe e Buwenge.
 
Kigambibwa okukwatibwa n’ebisigala bino, yali yabisimula mu malaalo omwezi gumu emabega n’abaako awantu aweekusifu we yasooka okubikweka.
 
POLIISI EMUTAASA
Olwamukutte yeekangabirizza nti yabadde atuukiriza omufu bye yamugamba nti bw’afanga, amuggyanga e Nawansaso n’amutwaala e Buwenge gye baabeeranga bombi.
 
Wabula ate bwe yabuuziddwa lwaki yakikoze mu nkukutu ng’abeenganda n’ekika tebamanyi, talina kye yazzeemu n’agamba nti omugenzi yatta omwana ng’akozesa eddogo!
 
Bwe yabuuziddwa eby’okufa kw’omwana we bikwataganira n’okusimula ebisigala, talina kye yazzeemu ekyasaanudde abatuuze ne baagala okumugajambula kyokka poliisi n’emutaasa.
 
ABASAWO B’EKINNANSI BAMWEGAANYI
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasawo b’ekinnansi e Kamuli ekya Uganda n’Eddagala n’obuwangwa Bwaiffe, Majid Mutalya yeegaanyi Lubaale nti tebamumanyi nga mmemba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...