TOP

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney

By Herbert Musoke

Added 19th November 2018

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money ne MTN Mobile Money) okudda ku 0.5 ku 100 ku ssente eziggyibwayo zokka.

Mm 703x422

Kasitoma ng’aggyayo ssente.

Bya HERBERT MUSOKE
 
KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money ne MTN Mobile Money) okudda ku 0.5 ku 100 ku ssente eziggyibwayo zokka.
 
Okusinziira ku kiwandiiko ekifumiziddwa emikutu gy’amasimu okuli Airtel, Africell ne MTN eky’awamu, okutandika ku Lwomukaaga oluwedde nga November 17, 2018, omusolo gwa ‘mobile money’ gwasaliddwa okudda ku butundu 0.5 ku buli 100 ku ssente eziggyibwayo zokka. “Okugeza okuggyayo 100,000/- ogenda kusalibwa 500/- ez’omusolo”, ekiwandiiko bwe kigamba.
 
Kyogerako nti, “tewali ssente zirina kusalibwa ku kuteeka ssente ku ssimu, okuweereza, okufuna oba okubaako ky’osasulira ng’okozesa empeereza z’essimu. Okumanya ebisingawo kuba 100 ku mikutu gyonna”.

 

 
Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okussa omukono ku tteeka lino oluvannyuma lw’okuwakanyizibwa ababaka ba palamenti n’abantu ab’enjawulo nga bagamba omusolo gw’ekitundu kimu ku 100 (1 ku 100), ku kuweereza n’okuggyayo ssente eziweerezeddwa ku ssimu mungi.
 
V.G. Somasekhar akulira kkampuni ya Airtel, yeebazizza Gavumenti, palamenti n’ebitongole ebirala ebikwatibwako olw’okuwuliriza amaloboozi g’okulaajana kw’abakozesa enkola eno n’abali mu bizinensi eno.
 
“Twaniriza enkyukakyuka eno ey’okukendeeza omusolo okudda ku butundu 0.5 ku 100 ku ssente eziggyibwayo zokka. Era ffe nga Airtel tweyama okusigala nga tutuusa empeereza eszeesigika era ezisobola n’okugoberera amateeka agassibwawo ebitongole ebituvunaanyizibwako,” Somaskhar bw’agamba.
 
Wakati w’omwaka guno, palamenti yayisa etteeka eriragira kkampuni n’abaddukanya bizinensi z’okutambuza ssente ku masimu okusala omusolo gwa kitundu 1 ku buli 100 ku ssente eziweerezebwa, ezifunibwa n’okuggyibwa ku ssimu ku mikutu gyonna.
 
Oluvannyuma lw’okulaajana kwa Bannayuganda, palamenti yaddamu okukubaganya ebirowoozo ku tteeka lino era etteeka lyakyusibwa ne guzzibwa ku butundu 0.5 ku buli 100 ate nga guggyibwa ku ssente eziggyibwayo zokka.
Mu kusooka kyali kitegeezeddwa nti bonna abaggyibwako ssente zaali zaakubaddizibwa wabula minisita Bahati yategeeza nti kino tekigenda kusoboka era tewali agenda kuddizibwa ssente zaamusalibwako ng’etteeka terinnalongoosebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera