TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB egumizza abayizi abaasubiddwa ebigezo ng'omugga Mayanja guwagudde

UNEB egumizza abayizi abaasubiddwa ebigezo ng'omugga Mayanja guwagudde

By peter ssaava

Added 20th November 2018

Omugga Mayanja guwagudde, abayizi n'abasuubuzi bakaaba

Mayanja6 703x422

Abantu nga balemereddwa okusomoka omugga.

 

Bya Peter Ssaava ne Benjamin Ssebaggala

Entambula esannyaladde mu bitundu by’e Mende mu Wakiso oluvannyuma lw'omugga Mayanja okuwaguza mu kiro ekyakeesezz Ssande.

Abantu naddala abasuubuzi abatambuza ebyamaguzi n’abayizi abakola ebigezo ebyakamalirizo bebasinze okukosebwa. Abayizi bangi abakola ebigezo bya S4 ne S6 tebaakoze olw’olutindo olubasomosa okutwalibwa amazzi. 

 Omu ku basuubuzi abatunda ennyannya, Francis Kyewalabye yategezezza nti abadde akozesa ssente ntono okutuusa ebintu bye ku lw’e Bombo naye kati agenda kufuna okutataganyizibwa ng’atya nti zandivunda ng atezinatuuka mu katale. 

 

Waliwo abantu mukaaga abateeberezebwa okuba nga baatwaliddwa amazzi era ng’abatuuze bakyagenda mu maaso n’okubanoonya era ng’essuubi ly’okubasanga nga balamu kigenze likendeera. 

 

UNEB etangaazizza ku bayizi abataakoze bigezo

Akulira UNEB, Daniel Odong agambye nti abayizi abaasubiddwa okukola ebigezo mu bitundu emigga gye gyasazeeko enguudo bakyalina essuubi.

Ategeezezza Bukedde nti embeera ng’eno bw’egwawo, UNEB etuula n’etunuulira ekizibu ekituuse ku buli muyizi ssekinnoomu ne basalawo eky’okukola.

 

Odong agambye nti singa omuyizi abeera mu bigezo n’alwala nga takyasobola kweyongerayo, basalawo eky’okukola basobole okumuddiramu n’akola ebisigaddeyo.

Omugga  Lwajjala ogwawula Wakiso ne Mukono wamu n’e Busiika ku nsalo ya Mukono ne Luweero ku mugga Mayanja gyawaguludde.

Emirimu gy’esibye ng’awamu tebasobola kusala mu mazzi era abayizi abamu abaabadde balina okukola ebigezo ne balemwa okubikola.

 

Odongo abagumizza nti ensonga zaabwe bajja kuzitunulamu basalewo eky’okubakolera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana