TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulira abaliko obulemu e Katalemwa bawanjagidde Gavt. ku musolo

Abakulira abaliko obulemu e Katalemwa bawanjagidde Gavt. ku musolo

By Dickson Kulumba

Added 20th November 2018

“Tusaba Gavumenti yaffe eya wakati eggye omusolo ku bintu bye tukozesa mu kukola ebintu ebyeyambisibwa abaana n’abantu abaliko obulemu obutali bumu. Tetulina nsimbi ng’ezituyimirizaawo tuzifuna okuva mu buyambi obwenjawulo obuva mu bantu,” Ouma bwe yagambye.

Balangirakatalemwa3 703x422

Abalangira n'Abambejja nga bali wamu n'aba East African Basic Foods nga bakwasa abamu ku baliko obulemu ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo bye baabawadde.

ABAKULIRA ekifo ky’abaliko obulemu ekya Katalemwa Cheshire Home for Rehabilitation Services e Katalemwa bawanjagidde gavumenti okuggya omusolo ku bintu bye beeyambisa okukola ebiyamba abaana okukozesa okuli obugaali mwe batambulira n’ebyuma ebiwanirira amagulu kubanga gubamenya. Cheshire

Bino byayogeddwa akulira Pulogulaamu ezikolebwa mu kifo kino, Bernard Ouma ng’ayaniriza bazzukkulu ba Ssekabaka Daudi Chwa II abaagenzeeyo okukola Bulungibwansi, ku Mmande.

“Tusaba Gavumenti yaffe eya wakati eggye omusolo ku bintu bye tukozesa mu kukola ebintu ebyeyambisibwa abaana n’abantu abaliko obulemu obutali bumu. Tetulina nsimbi ng’ezituyimirizaawo tuzifuna okuva mu buyambi obwenjawulo obuva mu bantu,” Ouma bwe yagambye.

Yagasseeko nti baatuukirira Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga ne bamusaba ku nsonga y’emisolo kyokka tebannafuna kuyambibwa bwatyo n’addamu okubakubira omulanga ensonga eno bagitunulemu.

Ye Edward Fredrick Walugembe nga ye mukubiriza w’abavubuka bano, yategeezezza nti basazeewo okwekolamu omulimu oluvannyuma lw’okukitegerako nti ekifo kino kyetaaga obuyambi naddala okulabirira abaana.

“ Ng’oggyeko Bulungibwansi gwe tukoze mu kifo kino, tuzze n’ebintu ebyenjawulo ebyeyambisibwa okuli eby’okulya, eby’okunywa n’okwambala biweebwe abaana bano. Omulimu ogukolebwa wano muzito nga gwetaaga obuyambi obuwera noolwekyo yenna alina obusobozi asaanye okuyitako wano aleete kyonna kyalina,” Walugembe bwe yategeezezza.

Mu kukola Bulungibwansi ono nga babadde wamu n’aba East African Basic Foods, Walugembe yategeezezza nti babadde bajjukira amazaalibwa ga Ssekabaka Muteesa II ng’ono yali afa nnyo ku bantu abatalina mwasirizi ne basalawo okutambulira mu kikolwa kye kino.

Joan Apar yalambuzza Abalangira n’Abambejja bano ssaako ebitundu eby’enjawulo ba Naavamwe bakolera emirimu egy’okulabirira abaana mu kifo kino era ne babasaba bakkirize babeere ba ambasada baabwe mu bantu abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...