TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oludda oluwaabi lulumirizza Abasiraamu mu musango gwa Magara

Oludda oluwaabi lulumirizza Abasiraamu mu musango gwa Magara

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2018

Magara ekisiraani kyamugwaako kubanga Yakub Byensi (takwatibwanga) yali amumanyi okuva mu kyalo e Hoima ate nga yakolerako bazadde be mu Container Village n’amanya nti bamwagala nnyo era tebasobola kulemwa kusasula ssente zino.

Basiraamu 703x422

Munnamateeka Evans Ochieng (ku ddyo)ng’ayanja ensonga mu kkooti mu musango oguvunaanibwa abagambibwa okutta Suzan Magara ku Mmande.

Bya ALICE NAMUTEBI
 
OLUDDA oluwaabi mu musango gw’okutta Susan Magara lulumirizza Abasiraamu abaakwatibwa ku muzikiti gwa USAFI nti ssente obukadde 700 ze baasaba bazadde
b’omuwala obutamutta kwe baagula ettaka lya yiika 36 e Buikwe n’e Bukekete - Luweero gye baasasula obukadde 154.
 
Ssente endala baagulako piki piki bbiri nnamba UBB 711R ne UAV 138G ku ssente obukadde 111, emmotoka Toyota Hiace UAX 962 G ku bukadde 32, Double Cabin UAW
138L ku bukadde 34 ne Toyota Hiace UAG 470G ku bukadde 10.
 
Olwamala okugulira Abasiraamu b’omuzikiti gwabwe ebintu bino, bonna baagabana akakadde kamu okweyozaako enfuufu.
 
 mugenzi agara Omugenzi Magara

 

 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
 
Okusinziira ku ludda oluwaabi, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hajarah Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita, Hassan Kato Miiro, Ismailah Bukenya ne Abbas Musa Buvumbo ekirowoozo ky’okufuna omuntu gwe bawamba bafune ssente baakikola lwa bwavu era n’olukiiko lw’okuwamba baalutuuza mu muzikiti gwa Usafi.
 
Buli omu yaweebwa obuvunaanyizibwa ng’abamu baalina kulondoola Magara n’okumukuuma nga bamaze okumuwamba.
 
Magara ekisiraani kyamugwaako kubanga Yakub Byensi (takwatibwanga) yali amumanyi okuva mu kyalo e Hoima ate nga yakolerako bazadde be mu Container Village n’amanya nti bamwagala nnyo era tebasobola kulemwa kusasula ssente zino.
 
Baagezaako enfunda bbiri okumuwamba.
 
Ogwasooka gwaliwo mu January 2018 bwe yali ava ku kabaga ekiro e Bugolobi ne
bamulemwa ng’ali n’omusajja ate ogwokubiri nga February 7, 2018, Yusuf Lubega, Musa Abbas Buvumbo ne Abubaker Lugolobi abaatambuliranga ku bodaboda
baamulondoola okuva ku SKB hotel e Bwebajja okumutuusa e Lungujja ne bamuwamba.
 
Baamusoosa mu maka ga Hajara Nakandi mu Church Zooni e Nateete.
 
Olw’okuba Byensi Munyoro nga bakwatagana mu lulimi ne bazadde ba Magara, ye yakubira kitaawe, Robert Magara essimu nga bamusaba ssente era n’akkiriza
okuzibawa.
 
Ssente ezaasooka Robert yazitwala awerekeddwaako poliisi ne bamwekengera era kwe kusalako Susan engalo okumulaga obumalirivu bwe balina era ekirowoozo
kino kyaleetebwa Byensi.
 
Engalo n’akatambi nga muwala we amusaba amutaase baabimuweereza era ogwaddako ssenga wa Susan, Fiona Magara ssente ye yazitwala e Kanaaba Ndejje gye baabalagirira.
 
Oluvannyuma Susan baamuggya e Nateete ne bamutwala mu nnyumba
ya Ismail Bukenya e Konge 11 gye baamuttira omulambo gwe ne bagusuula e Kigo ku lw’e Ntebe.
 
Eggulo abavunaanibwa baakomezeddwaawo ku kkooti ya Buganda Road basobole okusindikibwa mu kkooti enkulu gye bagenda okuvunaanibwa naye tekyasobose.
Guno mulundi gwakubiri ng’oludda oluwaabi lulemwa wadde ng’okunoonyereza kwagwa dda.
 
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road omusango yagwongezzaayo okutuusa nga November 21 asobole okwebuuza nga tannawo nsala ye.
 
 
 Ebirala ku Magara

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza