TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu abakaabira ba Faaza nga babakyusizza

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu abakaabira ba Faaza nga babakyusizza

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2018

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka okweeneenya ennyo nti tebawasa abakazi ab'enzi n'abatamiivu.

Kiibi 703x422

Faaza Kiibi ng'abatiza omwana mu mmisa

Bya Moses Nyanzi       

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka okweeneenya ennyo nti tebawasa abakazi ab'enzi n'abatamiivu.

               "Bannange abantu balina emize gyabwe, abakazi abatanafumbirwa mbalabula temufumbirwa abaavu,n'abakambwe, ate abasajja abatanawasa temuwasa abakazi abataamiivu, abenzi, abasomye ennyo, abalina ssente, abatalina mpisa ate leero abalungi ennyo eyo bbomu yennyini, ababalina abekikula kino mbasasidde mwe temukyalina kyakola".

               Kiibi abadde ne Faaza Emmanuel Kimbowa, ne Faaza Simon Peter Mpalanyi mu kukuza olunaku lw'omuwolereza w'ekissomesa ky'e Kasangati, Joseph Balikuddembe,olukuzibwa buli mwaka,nga mu baddemu n'okusonderako ssente z'okutandaaza ekifo kyonna okuwona ebisooto nga lwategekeddwa abavubuka n'omulamwa ogugamba nti Tujjaguze nga bwetuzimba ekissomesa kyaffe.

                  Yagambye nti abantu ab'engeri  zino ebiseera ebisinga amaka gaabwe tegabaamu Katonda, ate ng'amaka agatebenkedde g'ego g'osangamu Katonda nti okweguya kuba kutono nga buli omu yetwala nga bwalaba.

             Yatuuse n'okulumba abakulisitu beyayise abakunguzi abaakaabira bafaaza ababa bakyuusiddwa nagamba nti baba babakabira nga balinga abajja nabo n'abasaba okukomya akajjanja babaleke bakole emirimu gyabwe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...