TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

By Dickson Kulumba

Added 21st November 2018

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Kas1 703x422

Abataka nga bali mu lukiiko

MUTAKA Kyadondo Kasirye Mbugeramula asomoozezza bazzukulu be mu ssiga lya Ssendege abalwanira obukulu bwalyo kyokka ng’obukulembeze bw’ennono tebubeera bwa kalulu,bubeera bwa musaayi.

Bino yabyogeredde ku butaka bw’ekika ky’envuma ku Ssande November 18,2018 bweyabadde asisinkanye abamasiga agakola ekika kino nagamba ekiseera kituuse abazzukkulu bakomye okweyagaliza eby’obwereere.

“Abakulembeze balina enkola gyebalondebwamu ey’ennono emanyiddwa so ssi enkola bano gyebalowoozako ey’okuyita abantu n’okuwandiisa n’abantu okuvuganya ku bifo. Mu nnono tetuvuganya ku bifo tulina enkola ey'ennono emanyiddwa eteekawo abafuzi ab’ennono,” Omutaka Kyadondo bweyategezezza.

Kino kiddiridde okufa kwabadde ow’essiga Ssendege Munnabyamizannyo, Grace Sseruwagi, gyebuvuddeko, abazzukkulu bano abakulemberwa Dan Kasirye (olumu atera okweyita Bujjwenge) okutandika okukayanira obukulu bw’essiga lino kyokka ng’ekika kyalonda  Julius Kyeema Sseruwagi okutwala obukulu buno.

“Nsaba abeddira envuma bonna n’abantu baffe abali ku bizinga e Ssese abantu bano obutabawa mwaganya kuba beteeka mu bukulu bwebatalimu. Tetusobola kubaganya kusala lukujjukujju ku by’obugagga ebiri mu bifo byaffe byetulina e Ssese,” Omutaka Kyadondo bweyayongeddeko.

Mu ngeri y’okulwanira obukulu buno, Omutaka Kyadondo yategezezza nti bano batuuse n’okugunjaawo ebyafaayo ebitali bituufu nga babuzabuza abantu nti ebizinga by’e Ssese birina Obwakabaka obwawufu ku bwa Buganda, ekintu kyeyagambye nti bakikola mu ngeri ya bwannakigwanyizi.

“Wadde abenvuma tusibuka Ssese, tetubeerangako na Bwakabaka bwaffe era ng’ekika tutambulira wansi w’Obwakabaka bwa Buganda. Tetwagala bazzukkulu baffe basigale nga batambulira mu bukulembeze bw’amasiga gaabwe n’ekika ebiri e Ssese baleme kuwugulwa benoonyeza ebyaabwe,” Omutaka Kyadondo bweyakangudde ku ddoboozi.

Mu ngeri y’emu, Katikkiro w’ekika kino nga ye Festo Lwanga yakunze abeddira envuma okujja mu bungi okwetaba mu nsisinkano yaabwe ku Ssande nga November 25,2018 e Kawempe- Kyadondo okumanyisibwa enteekateeka z’okukulakulanya ekika kyaabwe wetuuse. Ate ab’essiga lya Ssekajja okusinzira ku mwogezi waabwe, Doreen Nankanja bakumanyagana ku lwa December 1,2018 e Bumbu- Kiteezi, Kyadondo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...