TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Hab2 703x422

OMUWENDO gw'abantu abatalina Kabuyonjo mu Lwengo gutabudde amyuka Kamisona mu minisitule y'ebyobulamu Julian Kyomuhangi n'awa ekiragiro.

Alagidde akulira eby'obulamu mu Lwengo Joseph Mutyogoma okukomya okutuula mu wofiisi akwate abantu abatalina kabuyonjo kiyambeko okukendeeza ku mujjuzo gw'abalwadde mu malwaliro.

Kino kidiridde Rdc Jjuuko Kasiita okukuba ebituli mu alipoota ya Mutyogoma  bwe musigademu abantu 35 bokka abatalina kaabuyonjo n'ategeeza nga bwakooye alipoota eno etakyuka kumpi buli mwaka nga ne bwe bweyali mu lwengo kumpi emyaka ebiri Pulezidenti Museveni kyajje amukomyewo omwaka guno era alipoota asanze y'emu.

Kasiita asabye kamisona Kyomuhanji afune olupapula lwa Bukedde olwafulumizibwa nga 1/Nov/2018 olulaga amalwaliro gonna aga Gavumenti agali ku mitendera gya Health Centre IV kabuyonjo zaago zajjula dda ekyabulako katono ne bakansala ku lukiiko lwa disitulikiti okw'ekuba ebikonde nga kibasusseeko.

Bino bakira babyogerera ku mukolo Disitulikiti ye Lwengo lweyakuzizza olunaku lwa
Kabuyonjo mu kabuga ke Kinoni ku mulamwa ogugamba nti" When Nature
calls,listen and act( Eky'obutonde bwe kikonkona,wuliliza okolerewo).

Kaminsona Kyomuhanji bino olumugudde mu matu atadde kunninga akulira eby'obulamu okufuna mbagirawo omuwendo gw'abantu abatalina kaabuyonjo omutuufu nga n'ezamalwaliro ga Gavumenti tazisudde muguluka kiyambeko Gavumenti okusitukiramu ekole ku kizibu kino naddala mu malwaliro gaayo agafuuse ekisekererwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...

Baka 220x290

Emmotoka ezikwamidde ku mwalo e...

MMOTOKA za Bannayuganda ezigwa mu ttuluba ly’ezo ezaawerebwa obutaddamu kuyingira mu ggwanga eziri ku mwalo gw’e...