TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'eddira omusu bafunvubidde kukuzimba obutaka bwabwe

Ab'eddira omusu bafunvubidde kukuzimba obutaka bwabwe

By Dickson Kulumba

Added 21st November 2018

Ab'eddira omusu bafunvubidde kukuzimba obutaka bwabwe

Kay3 703x422

EBIKA bisabiddwa okusitukiramu okuteeka enkulaakulana ku butaka bwabwe butuukane n’omulembe oguliwo ng’ekimu ku bintu ebigenda okubyongeramu amaanyi ate n’okubiwonya ababbi b’ettaka abakyase ensangi zino.

Okusaba kuno kwakoleddwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante IV  ku butaka bw’ekika ky’Omusu  e Sama- Mawokota gyeyagenze ku Lwokubiri November 20,2018 okulaba omulimu gw’okuzimba n’okukulakulanya obutaka bw’ekika kino wegutuuse naagamba nti abazzukkulu bonna basaanye okwetaba mu nkulaakulana bweti.

“Ekiseera kituuse nga tulina okukyusa enfanana y’embuga z’abataka okuva ku mirembe gya Bassekabaka Nakibinge, Ssuuna okutuuka ku mulembe guno Omutebi.

Embuga z’abataka obutabeera mu mbeera nnungi y’ensonga lwaki tebakyakola buvunanyizibwa bw’okugunjula Abalangira n’Abambejja naye singa tuzimba embuga zaffe ne zibeeramu buli kintu n’ebyo ebiyigiriza kitegeza tusobola okuddamu ne tutuukiriza obuvunanyizibwa buno n’obulala wakati mu kitiibwa,” Kayiira Gajuule bweyategezezza.

Omutaka Kayiira yagenze mu maaso n’amukubira bonna abakwasibwa obuvunanyizibwa obw’okusonda ensimbi mu bika, bakikole wakati mu bwesimbu nga zikola enkulakulana eyo ebeera ekolebwa nga kino kyakwongera obwesige mu bantu okusondanga ku buli nsonga ya nkulakulana ebeera ereteddwa mu kika.

“Mu bika mulimu obulwadde nti oli bwakwata ssente z’ebika bweziwera ng’agamba nti Muyingo ananvunanawa. Nkubiriza abazzukkulu abanasolooza ssente ezikola pulojekiti zino, okulaba nga zituuka ew’Omuwanika nga bwezirina okubeera kuba  Tubeere beesimbu, ssente tuzikozese kyezirina okukola kuba n’abalala bwebajja okuddamu amaanyi okuwaayo olw’enkulakulana y’ebika,” Kayiira Gajuule bweyawabudde.

Omutaka Muyingo Samuel Bulega nga ye mukulu w’ekika ky’omusu yagambye nti abadde asomoozebwa buli kadde nga ku butaka bwe, bwekutali nkulakulana yonna kyokka Katonda yamuyamba nafuna abazzukkulu abakugu nebafuna okwolesebwa ku ngeri gyebayinza okukulakulanya ekifo bwatyo ensonga nagiwaaba ewa Kabaka.

Obuvunanyizibwa bw’okukulakulanya yiika 100, Ying. Wycliffe Jjagwe nga Ssentebe w’olukiiko era yanyonyodde abagenyi nti batandise n’okuzimba enju y’Omutaka,okuteekako oluggya olwomulembe, akabira awanakumirwanga emisu,ekkumiro ly’ebyedda n’ebirala.

“Ekigendererwa kyakufuula Sama ekibuga n’olwekyo wano wagenda kubeerawo amasomero, eddwaliro, enguudo, amasanyalaze, ebifo by’obulambuzi okuli oluzzi Nabankema n’ebirala nga kyetusaba be bannaffe bonna okuvaayo tukwatire wamu ku Pulojekiti yonna yetaaga obuwumbi busatu n’okusoba kyokka nga mu kusooka twetaaga obukadde 500 okumaliriza embuga y’Omutaka,” Ying. Jjagwe bweyakowodde bazzukkulu banne.

Abataka Kasirye Mbugeramula Kyadondo akulira envuma, Samson Nabbimba Nakigoye ow’e Kinyomo bawerekedde ku Kayiira Gajuule era nebatuukako ne ku butaka bw’ekika ky’endiga e Mbaale- Mawokot

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Coronavirus2 220x290

Engeri Corona gy’akyusizza enkola...

MU kiseera kino buli muntu amaze okuloza ku bulumi bwa Corona. Ebyenfuna by’amawanga gonna bisannyaladde olwa Corona....

Nonya 220x290

Tunoonya abakyala abalina kebeekoledde...

Nneetaaga omukyala omukkakkamu, alabika bulungi, alina empisa okuva ku myaka 18 ne 28 omwetegefu okwekebeza omusaayi....

Lumba 220x290

Ekisenge ky’ekikomera kigwiiridde...

FFAMIRE ya bantu mwenda yasimattuse okufiira mu nju mwe baabadde beebase ekisenge ky’ekikomera kya kalina ebaliraanye...

Baana1 220x290

Byotalina kusuulirira ku mwana...

Omuzadde buli mutendera omwana gw’atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

Jjemba1 220x290

Omuyimbi Jjemba landiroodi amugoba...

OMUYIMBI omuto eyavuganya Fred Ssebatta, Vincent Segawa, Silvester Busuulwa, Mathias Walukagga, n’abalala mu mpaka...