TOP

Bajjumbidde okujjuza akalulu ka Gabula Ssekukkulu

By Moses Kigongo

Added 21st November 2018

Abantu ab'enjawulo mu Kampala n'emiriraano bajjumbidde okujjuza akalulu ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu okusobola okwewangulira ku byassava.

Bya MOSES KIGONGO

ABANTU ab’enjawulo beeyongede okujjumbira akazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukulu.

Mu bano mulimu abasuubuzi abakolera mu Kikuubo abaakulembeddwa Sam Muyomba omwogezi w’olukiiko lwa ‘Kikuubo Business Community’ omwegattira abasuubuzi. Ono ye yasoose okujjuza akakonge olwo n’akunga abasuubuzi okwettanira akazannyo kano n’ekigendererwa ky’okufuna abawanguzi.

“Tutandise kaweefube w’okugula amawulire ga Bukedde agawerako buli lunaku n’ekigendererwa ky’okujjuza obukonge obunaatusobozesa okulinnyisa emikisa gy’okuwangula ebirabo bya Bukedde mu kalulu kano,” Muyomba bwe yategeezezza.

 Akazannyo ka Gabula Ssekukkulu kategekebwa kkampuni ya Vision Group ng’eyita mu mikutu gya Bukedde okuli olupapula,Ttivvi ne leediyo era ng’okukeetabamu kola bino wammanga.

 

Bukedde olupapula

Gula olupapula lwa Bukedde ogende ku muko ogwokubiri ojjuze ku kakonge ebikukwatako okuli amannya go n’ennamba y’essimu.

Oluvanyuma osobola okukawa omutunzi w’amawulire ga Vision Group mu kitundu kyo oba okukaleeta ku kitebe kya Vision Group n’okakwasa abakozi ba kkampuni eno ababeera mu kifo w’otuukira.

Leediyo ya Bukedde Fa Ma

Abawuliriza baayo basobola okukeetabamu nga bayita mu kuwuliriza pulogulaamu zaayo ez’enjawulo era kujja kubaako oluyimba lwa Ssekukkulu lw’onoowandiika essaawa kw’oluwuliridde olwo olindirire okuweebwa omukisa mu pulogulaamu ezinaddako osobole okukeetabamu ng’oyita mu kukuba essimu okutubuulira essaawa kwe waluwuliridde.

 Bukedde ttivvi

Abalabi ba Bukedde Ttivvi bajja kulinda abakozi baayo abagenda okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga bakwata amaloboozi g’abantu abanaayimba ennyimba za Ssekukkulu. Era oluvannyuma ennyimba zino zijja kulagibwa ku ttivvi eno, anaabeera azirabye oweereze ku nnamba 8338 ng’osoose okuwandiika ekigambo “Gabula” olekewo akabanga osseemu oluyimba olwayimbiddwa, amannya g’eyaluyimbye, pulogulaamu kwe waluwulidde n’essaawa, olwo oyogere amannya go ne gy’obeera.

Bonna abanaaweereza baakuvuganya mu kazannnyo kano olwo kulondebweko abanaawangula ebirabo okuli enkoko za Ugachick ezizitowa kkiro 4, ebirungo bya Aromat, omuceere gwa SWT wamu n’ebirabo ebirala okuva mu kkampuni ya CAFAC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.