TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Kawees tebinnaggwa; Scotland yard esunsudde ba mbega kabiriiti

Ebya Kawees tebinnaggwa; Scotland yard esunsudde ba mbega kabiriiti

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Ebya Kaweesi tebinnaggwa; Scotland yard esunsudde ba mbega kabiriiti

Feb1 703x422

Felix Kaweesi

BAMBEGA ba Bungereza aba Scotland Yard basunsudde ttiimu y’abakessi abakugu okuzuula obujulizi bwonna obubadde bwakwekebwa ku batta Kaweesi. Ttiimu eno bagitaddemu abakugu abazze banoonyereza ku misango emizibu naddala egyalema, ne bagitereeza era n’abatemu ne bakwatibwa.

Kino kyongedde essuubi nti n’omusango gw’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi bagenda kutaganjula batuuke mu buli kasonda era omutemu ayanikibwe ensi emumanye. Scotland Yard okuyingira mu nsonga z’okutemula Kaweesi kiddiridde olukiiko lw’ebyokwerinda olw’oku ntikko olukulirwa Pulezidenti Museveni okusalawo okuleeta ekitongole kya Bungereza kino ekikessi okuyambako okuzuula abatta Kaweesi.

Kaweesi yattibwa March 17, 2017 nga yaakava ewuwe e Kulambiro ku makya, ng’agenda Mukono. Yattibwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Olukiiko lw’ebyokwerinda okusalawo okuleeta abakessi bano kyaddiridde lipooti ezaakolebwa ebitongole bya wano ebyokwerinda okuli CMI ne ISO kyokka abeebitongole ebirala ne bazikubamu ebituli.

Ebimu ku bituli ebyali mu lipoota eyakolebwa ke katambi akagambibwa okubaamu eddoboozi erigambibwa nti lya Genero (amannya galekeddwa) ng’ayogera n’agambibwa okuba Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad. Mu ddoboozi lino, aba ISO bagamba nti Genero yali yali abuuza Muhangi nti; “Kaweesi afudde?” nti era Muhangi n’amuddamu nti, “Yee, kiwedde..” Kino abooludda lw’abaakwatibwa baakikubamu ebituli nga bagamba nti amaloboozi magatte era akakiiko akassibwawo okwekenneenya obujulizi nako ne kasoberwa ne kalaga nti weetaagisaawo abakugu okuddamu okwekenneenya amaloboozi ago okuzuula oba gaagattibwa oba matuufu.

Ttiimu ya bambega eyasunsuddwa eriko abaakuguka mu by’amaloboozi era bagenda kujja n’ebyuma okuli ekirina tekinologiya mwe bateeka eddoboozi ekyuma ne kikakasa nti ddala lya muntu oyo gwe banoonyerezaako. Era mu bukugu bwa Scortland Yard, basobola okuzuula ekiseera eddoboozi we lyakwatirwa ku katambi.

Mu bimu by’esuubira okumalawo bye birowoozo ebiri mu Bannayuganda abamu abagamba nti eyakola olukwe lw’okutemula Kaweesi amanyiddwa wabula abikkirirwa ate abalala bagamba nti wadde abateeberezebwa bayinza okuba nga be batuufu wabula obujulizi bwavulugibwa nnyo era ekitongole nga Scotland Yard kye kiyinza okuzuula ebyakukulirwa ne babikozesa ne mu kuvunaana abagambibwa okwenyigira mu butemu. Ekimu ku byesigamwako okuleeta Scotland Yard kwe kwemulugunya abamu ku boofiisa abaakwatibwa kwe baawaayo nga bagamba nti aba ISO ababanoonyerezaako, baludde nga tebakolagana nabo era babalinako akakuku.

Ekirala abamu ku baakwatibwa baatuusa okwemulugunya kwabwe ewa Pulezidenti nga baagala bayimbulwe kubanga basibiddwa ebbanga ddene nga tebatwalibwa mu kkooti, kyokka ng’ate n’oludda lwa ISO ne CMI nga kino bakiwakanya nga bagamba nti kigenda kwongera kubayamba kusaanyaawo n’obujulizi obulala obubadde bwasigalawo ku kutta Kaweesi.

Ng’oggyeeko ekya famire ya Kaweesi nayo eyagala okufuna obwenkanya ku muntu waayo eyattibwa omwaka mulamba n’ekitundu emabega kyokka ng’omutemu tannakolebwako; eky’okutya omusango guno okwabuluzaamu ebitongole ebikuumaddembe nayo yabadde nsonga ndala gye beesigamyeko okusalawo okutumya Scotland Yard enjuyi zombi gye bakkiririzaamu nti yaakuwa ebituufu ku batta Kaweesi n’ebigendererwa byabwe. Olw’obukulu bw’ensonga eno, akulira Scotland Yard omukyala Cressida Dick yasazeewo okulonda ttiimu kabiriiti eya bambega abakugu ennyo abatalemererwa. Mu gimu ku misango egyali gitakuza Abangereza emitwe kyokka Scotland Yard n’egisensula mulimu n’egikwata ku batujju. Ogumu ku misango gye baakolako n’obumalirivu gwatandikira ku ngalo ya musajja eyasangibwa embwa mu bitundu by’e Woburn.

Engalo eno yali mu dduuka kyokka tebaasangawo kitundu kya mubiri kirala. Bino byaliwo mu nga December 4, 2010. Okunoonyereza okwakulirwamu mbega Tom Boon kwazuula nti engalo eyo yakutuka ku mutujju Hasib Hussain eyakulira abaatega bbomu nga July 25, 2007 mu kitundu ky’e Aldgate ne zitta abantu 52. Engalo eno baagisanga yakala dda, kyokka Tom Boon ng’ali ne banne baakozesa tekinologiya okuzuula eyali nannyini ngalo eyo era ne bamuzuula.

Omusango omulala ogufaananako ogwo gwe baakolako gwatandikira ku kuzuula ebitundu by’omubiri gw’omwana omulenzi ng’ateeberezebwa okubeera wakati w’emyaka ena n’omusanvu. Tebaalina waakutandikira ng’omwana yali Muddugavu kyokka ng’ebitundu by’omubiri biri mu London.

Kyateeberezebwa nti omwana baali bamusaddaase ku mugga River Thames mu London ne bakozesa abukugu okumanya omwana gy’ava. Aba Scotland Yard baabayingiza mu musango ne banoonyereza era ne bazuula nti omwana yali ava Nigeria mu Afrika.

Baakizuula nti omwana baamusalako omutwe nga mulamu. Baazuula nga nnyina w’omwana yamukukusa n’amuyingiza Scotland era ne bafuna obujulizi obulaga nti maama yali mu lukwe.

Omusajja eyasalako omwana ono omutwe, naye aba Scotland Yard baamuzuula. Mu misango emirala gye batagguludde kuliko ogwa munnamawulire wa BBC, Jill Dando bwe baamukuba amasasi emisana ttuku mu 1999. Scotland Yard yakozesa abamu ku bakugu baayo mu bukessi ne bazuula abatemu abaali babuzeewo nga n’obujulizi babutaataaganyizza bwonna.

Baakizuula nti omutemu yasindikibwa bayeekera b’e Serbia okwesasuza ku munnamawulire ono eyali abakolokota ennyo. Mu 2008 aba Scotland Yard baazuula abatemu abatta abayizi babiri Laurent Bonomo ne Gabriel Ferez ab’emyaka 23 abaali bagenze e Bungereza okusoma.

Baabayingiza ebisulo ne babafumita ebiso emirundi egisukka mu 200 ne babatta era guno gwe gumu ku misango egyali emizibu kubanga tegwaliko bajulizi naye tekinologiya gwe baakozesa ye yaggyayo obujulizi bwonna era tekinologiya oyo y’omu ku gwe bagenda okukozesa mu musango gwa Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...