TOP

Ebya FBI byeyasooka okuzuula

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Ebya FBI byeyasooka okuzuula

Yam1 703x422

Ekirala ku byongedde essuubi mu kuzuula abatta Kaweesi, bye byakung’aanyizibwa ab’ekitongole kya Amerika ekikessi ekya Federal Investigations Bureau (FBI). Kaweesi nga yaakattibwa, bambega ba FBI baatuuka mu kifo we baamuttira e Kulambiro era ne bagenda n’e Mulago gye baatwala omulambo ne babaako obujulizi bwe bakung’aanya.

Kigambibwa nti aba FBI mu kuyingirawo amangu baali balowooza nti okutemula Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga nti kwekuusa ku butujju; kyokka byonna bye bazuula byali biraga nti temwali batujju ng’obutemu bwa munda era bbo kwe kubivaamu ne babirekera ebitongole bya wano binoonyereze.

Engeri ebitongole bino ebiri ku ddaala ly’ensi yonna gye bikolaganamu, kisuubirwa nti ebyo aba FBI bye baafuna baakubiwa aba Scotland Yard nabo bazimbire kwo mu kuzuula abatta Kaweesi.

Kyategeezeddwa nti aba Scotland Yard bagenda kugaziya okunoonyereza kwabwe batuukirire n’abantu abaali tebabuuziddwa kintu kyonna mu kunoonyereza kwa ISO ne CMI. Kigambibwa nti mu bamu ku bagenda okubuuzibwa kuliko AIGP Abbas Byakagaba eyasemba okwogera n’omugenzi mu ssimu nga bamukuba amasasi ssaako ne nammwandu Annet Nabwami, abaana ba Kaweesi n’abooluganda lwe abagambibwa nti balina ebyama bye bamanyi ku Kaweesi n’abantu be yali yeekengera okumutuusaako obulabe.

Omulala gwe basuubirwa okubuuza ye Christine Muhooza Mbabazi agambibwa okuba muninkini wa Kaweesi ng’ono ebitongole by’ebyokwerinda byamukaayanira era katono poliisi ne ISO bakubaganire amasasi mu maka g’omukazi ono e Lungujja.

ISO eraga nti omukazi ono yali mu lukwe era alina bingi by’amanyi wabula Mbabazi abyegaana. Mu kakuubagano akaaliwo ku bitongole by’ebyokwerinda, baasindikayo eggye erikuuma Pulezidenti era lye likyakuuma omukyala ono nga bamukuumira mu nnyumba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...