TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 21st November 2018

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Lwe 703x422

Mawanda eyattiddwa

ZULAYIKA Nalubega bwe yattibwa omwezi oguwedde, mwannyina Huzayiru Mawanda n’awera okulondoola omutemu okutuusa ng’akwatiddwa. Kyokka abadde tannakwata mutemu naye (Mawanda) n’attibwa mu bukambwe.

Abaatemudde Mawanda 38, baamukimye ku siteegi ya bodaboda ku ssundiro ly’amafuta erya Meru okumpi n’enkambi y’amagye e Makindye w’abadde akolera. Era y’abadde ssentebe w’abavuzi ba bodaboda. Ku Lwomukaaga yabadde ku mupiira gwa Cranes ne Cape Verde e Namboole gye yavudde n’adda ku siteegi okupakasa. Waliwo abaamukubidde essimu emuyitira omulimu n’agenda.

Okuddayo okumulaba ng’attiddwa olwo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago. Omulambo poliisi yagusanze ku kkubo e Nsangi ku lw’e Masaka nga guliko ebiwundu ku mutwe. Omubiri gwabaddeko enkwagulo nga kirabika baasoose kulwana. Ebiwandiiko bye, essimu ne pikipiki byonna baabitutte.

Obutemu buno buddiridde okufa kwa Nalubega abadde akolera mu katale ewa Kisekka. Nalubega mwannyina Mawanda kigambibwa nti yattiddwa bba Kulayisi Lukandwa 37, naye akolera ewa Kisekka nga makanika. Nalubega ne Lukandwa babeera Nsaggu Central Cell e Kajjansi mu Ggombolola y’e Ssisa e Wakiso. Lukandwa yabula era bukya mukazi we attibwa anoonyezebwa poliisi.

Mawanda abadde awera nti mu buli ngeri ajja kukwata Lukandwa asasulire okutta Nalubega. Mawanda abadde asula Nabbingo. Alese omukyala n’abaana bana. Okufa kwa Mawanda kuwezezza abaana basatu abafudde omwaka guno mu famire ya Hajji Abbas Lubega, e Kyotera ku kyalo Kabale-Butiti.

Hajji Lubega yasooka kufiirwa muwala we Hamida Nabunje eyafiira mu lutalo lw’okuzaala ne kuddako Nalubega agambibwa nti bba Lukandwa yamukuba omuyini ku mutwe n’amutta nga October 14, 2018. Kati ate ne Mawanda atemuddwa. Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire yategeezezza Bukedde nti poliisi yabadde tennabaako by’ezuula ku basse Mawanda.

Omulambo bwe gwaggyiddwa ku kkubo ne gutwalibwa e Mulago, eno abooluganda gye baaguggye okugutwala e Kyotera gye gwaziikiddwa eggulo. Poliisi tennayogera na baaluganda wadde nabo okukola sitatimenti. Moses Kayondo ng’ono muganda wa Mawanda yategeezezza nti, okubula kwa Mawanda baakutegedde ku Ssande, mukyala we bwe yabakubidde essimu ng’ategeeza bba bw’ataakomyewo waka ate nga n’essimu ye teyaliiko. “Twamunoonyezza n’atubula.

Twamaze kutwala mawulire ku ggwanika e Mulago era eno gye baatulagidde ekifaananyi kya Mawanda ne batutegeeza nti omulambo poliisi yagutuusa mu ggwanika mu kiro ky’OLwomukaaga”, Kayondo bwe yategeezezza.

Omu ku mikwano gya Mawanda yagambye nti abadde tatera kuvuga pikipiki kiro naye lwe yatemuddwa omuntu yamukubidde essimu ng’alabika amumanyi kye yavudde agenda okumusaabaza. Kayondo yategeezezza Bukedde nti aba famire ya Mawanda bateebereza nti mukoddomi waabwe Lukandwa eyatta Nalubega yandiba nga ye yaluse olukwe okutta Mawanda kubanga y’abadde asinga okuteeka amaanyi mu muyiggo gw’okuzuula Lukandwa atwalibwe mu mbuga z’amateeka.

Omu ku ba bodaboda ababadde bakola ne Mawanda yagambye nti, Mawanda amaze wiiki ssatu ng’agamba nti alina abantu abamutambulirako era bamukubira amasimu agamutiisatiisa ave ku musango gw’abatta mwannyina.

Yagambye nti Mawanda abadde muntumulamu ng’ebiseera bye ebisinga abimala n’abaana be ate bw’ataba waka aba ku mulimu. Kyokka waliwo n’abateebereza nti kiyinzika okuba ng’abasse Mawanda baabadde na kigendererwa kya kubba pikipiki. Bino byombi poliisi eri mu kunoonyereza okuzuula ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo