TOP

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cam1 703x422

Kamulegeya (ku kkono) lwe baali banyumyamu ne Mufti Mubajje ku dduwa y’omugenzi Hajji Yahaya Byayi.

ABAKULEMBEZE b’Obusiraamu e Kibuli bagobye abadde akulira Bamasheikh mu Uganda Sheikh Obedi Kamulegeya ku bukulu buno ne bamusikiza Sheikh Abdulnoor Lunaanoba.

Bagambye nti Sheikh Kamulegeya bamulanga kukukuta n’aba Kampalamukadde aba Mubajje! Omwogezi w’e Kibuli Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwe yabadde alangirira okugoba Kamulegeya yagambye nti; “Okuva olwaleero Abasiraamu mwenna abakkiririza mu bukulembeze bw’e Kibuli tubalabula okukomya okutuyita ku mukolo gwonna ogunaabeerangako Sheikh Obedi Kamulegeya kubanga twamwesiga nga tulowooza nti atambulira wamu naffe naye tumaze okukizuula ng’ali ku birala”. Bino Muzaata yabyogeredde ku mawuledi eyabadde ku muzikiti e Kibuli bwe baabadde bakuza amazaalibwa ga Nabbi Muhammed (S.A.W) eggulo.

Muzaata yayongeddeko nti, “Ffe abantu abamanyi kye twagala tetuyinza kugenda mu maaso n’omuntu nga Kamulegeya eyayimirira ku Hotel Africana gye twatuuza olukuhhaana lwa bamasheikh abasoba mu 500 n’atutegeeza ebintu birala ate nga mu kiseera kino akola birala.

Kamulegeya atusobedde kuba y’akulira enjiri y’okwegatta kw’Abasiraamu ng’ayagala okutugatta ku ba Kampalamukadde buli omu b’amanyi obulungi lwaki tetusobola kwegatta nabo.” Muzaata yayongedde okwogerera Kamulegeya nti kati wa ddembe okugenda e Kampalamukadde emisana kuba bbo ab’e Kibuli bamuvuddeko era Sheikh Lunaanoba y’akulira bamashiekh mu Uganda yonna. Sheikh Kamulegeya yagaanye okubaako ky’ayogera ku nsonga eno.

Muzaata era yalabudde omuntu yenna anaddamu okuyimirira ku mukolo n’alengezza Omulangira Nakibinge Jjajja w’Obusiraamu nti bagenda kumufiirako. Balabudde ne Gavumenti okulowooza ku Basiraamu nga banoonya asaasikira Jennifer Musisi nga dayirekita wa Kampala.

Omukolo guno gwetabiddwaako n’Omulangira Nakibinge, Omulangira Kalifani Kakungulu, Supreme Mufti Ndirangwa, ssentebe wa takisi Yasin Ssematimba n’abalala. Ndirangwa yasabye okutulugunya abantu n’ettemu ebigenda mu maaso mu ggwanga bikome kubanga eyo si nkola ya buntu bulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...