TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

By Edward Luyimbazi

Added 21st November 2018

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Sib1 703x422

Siraje Bakaleke

POLIISI ekyalemeddwa okukwata omuserikale waayo ACP Haji Siraji Bakaleke okumuleeta mu kkooti okumusomera emisango 12 okuli okuwamba n’okubba Abakorea egyamuggulwako mu kkooti ewozesa abakenuzi n’abalyake e Kololo.

Omulamuzi Moses Nabende yayisa ekiragiro ekikwata Bakaleke aleetebwe mu kkooti eno bamusomere emisango gino naye kati giweze emirundi esatu nga kkooti eno etuula kyokka nga Bakaleke taleetebwa. Omuwaabi wa Gavumenti Harriet Angom yategeezezza kkooti nti kirabika Bakaleke yadduka mu ggwanga nga taliimu naye batutte okusaba kwabwe mu minisitule ekola ku nsonga z’omunda okumanya entambula ze.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti Bakaleke yasooka kwekukuma mu maka g’omu ku bagagga ali mu bizinensi z’ettaka, oluvannyuma n’addukira e South Afrika. Baserikale banne bwe bavunaanibwa ku musango guno okuli D/ASP Robert Munezero, D/ASP Innocent Nuwagaba, PC Junior Amannya, PC Gastavas Babu ne PC Keneth Zirintuusa bo beeyanjudde mu kkooti ne babasomera emisango gino kyokka nga bakyalinda Bakaleke omuwawaabirwaasooke aleetebwe mu kkooti omulamuzi asalewo eky’okukola.

N’omuserikale omulala D/AIP Robert Asiimwe ali ku musango guno eyalemwa okuleeta abantu abayinza okumweyimirira aleeteddwa okuva mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ng’ono yasabye kkooti okumukkiriza okweyimirirwa era ku luno aleese abantu abaamweyimiridde.

Omulamuzi Nabende yamukkirizza okweyimirirwa n’amulagira okusasula obukadde 4 ez’obuliwo ate abamweyimiridde n’abalagira okusasula obukadde 180. Omusango yagwongeddeyo okutuusa nga December 14, 2018.

Okusinziira ku Angom, abawawaabirwa wakati wa February 4 ne 11 2018 nga basinziira mu poliisi baakozesa bubi ofiisi ne baakwata Abakorea; Park Seunghoon, Jang Seungkwon ne Ha Dongsub ne basibwa mu bumenyi bw’amateeka.

Bakaleke era avunaanibwa omusango gw’okwekobaana okufera abantu nga kigambibwa nti wakati wa February 4 ne 11 ng’ali ne Paul Mugoya ne Samuel Nabeta baafera ssente ezikunukiriza mu buwumbi bubiri okuva mu kkampuni ya Mckinley Resource Company Ltd.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sewanyanangaafulumapoliisienaggalama 220x290

Omubaka Allan Ssewanyana agguddwaako...

Omubaka wa Makindye west, Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi e Naggalama gy’amaze ebiro bibiri ng’aggaliddwa....

Didi 220x290

Bamugemereire agobye Rukutana lwa...

Entabwe yavudde ku Rukutana okubuuzibwa atangaaze kwe yasinziira okuwabula Gavumenti okusasula Dr. Muhammad Kasasa...

Bim1 220x290

Kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi