TOP

Karitas Kario ayogedde ekyamuggya mu Golden band.

By Martin Ndijjo

Added 21st November 2018

Karitas Kario ayogedde lwali yava mu Golden band. Yeegaanye eby’okubeera mu laavu ne Ronald.

Kalooo 703x422

Karitas Kario

Karitas Kario eyayimba ne Ronald Mayinja oluyimba lwa ‘Njagaza kajanja’ y'omu ku bayimbi abaawukanye ne bakama babwe omwaka guno.

Oluvannyuma lw'ekiseera ng'asiriikiridde ne mu bivvulu takyalabika ekiviriddeko n’abawagizi be okwebuuza ky’aliko, omuyimbi Karitas Kario agamba akomyewo okuvuganya.

Wadde nga Karitas agamba nti kati ayimba bw'omu, bangi ku bawagizi be bakyebuuza nsonga ntuufu eyamuviriddeko okwabuulira ekibiina ekyamuteeka ku maapu anti mukugenda yasooka kusiibula bakama be ng’agamba nti agenze kuzaala ate olwamala okuzaala n'alangira bwavudde mu bandi.

 ayinja ngayimba aritas ario Mayinja ng'ayimba Karitas Kario

Ono gwe twasanze ku Pearl Of Africa Hotel e Nakasero agamba nti okuva mu bandi yakikola oluvannyuma lw’okulaba nga takyasobola kutuukiriza pulogulaamu za bandi ate nga yeetaga obudde obumala obwa maka ge nddala obudde bwamutabani we. 

“Ekiseera kyatuuka nga sikyasobola kutuukiriza pulogulaamu za bandi okugenza nga tulina okugenda okuyimba mu byalo kyokka ennaku ezimu nga sigenda ate nga kino kinyiza abawagizi kwe kusalawo ntandike okuyimba obw’omu.”

Bwe yabuuziddwa ku byogerwa nti alina enkolagaana eyenjawuulo ne Mayinja era nti kye kimu ku byamutabula n’okuva mu kibiina,

Ono yabiwakanyiza nga agamba nti ababyogera bamusibako matu ga mbuzi kumulisa ngo.

“Ekyo ekiboozibozi era ndudde nga nkiwuulira naye si kituufu, Mayinja abadde mukama wange era muyimbi munange tewali kirala kitugatta nga bwempulira abogera ku bya laavu ng’olabiraddala bye bogera tebigatta okujjako okweaga okuntabulira amaka ne Mayinja okumutabulira amaka ge.

Ye kyebagamba nti nze asoose okuyimba naye oluyimba lwa kolabo oba balina awala wonna we baali batulabyeko nga si bya kuyimba.” Karitas bwe yabuuzizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...

Fit11 220x290

Omuliro oguvudde ku masannyalaze...

Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga