TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Dr Tee ne Betty Mpologoma gye baddinganyemu

Engeri Dr Tee ne Betty Mpologoma gye baddinganyemu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2018

Engeri Dr Tee ne Betty Mpologoma gye baddinganyemu

Mag2 703x422

Dr. Tee ne Betty Mpologoma.

OMUYIMBI Dr. Tee era nga ye Pulezidenti w’ekibiina kya UPRS ekikuuma obwannannyini bw’ebiyiiye bya bannakatemba, abayimbi n’abalala, addihhanye anye ne muyimbi munne, Betty Mpologoma.

Dr. Tee ng’amannya ge amatuufu ye Travis Kazibwe yawasa omukyala nkubakyeyo e Bungereza, Mariane Kijjambu Bashabire mu January wa 2014 oluvannyuma lw’okukyala mu bakadde mu 2012 e Bulenga ku lw’e Mityana.

Ebigambo byali bingi ne mikwano gya Dr. Tee bangi beesika olw’okulowooza nti yali agenda kuwasa Betty Mpologoma wabula n’agenda n’omusama gwe yali alinamu abaana ababiri mu budde obwo.

Mu October wa 2012, nga wayise akabanga katono nga Dr. Tee akyadde mu bakadde ba Bashabire, Betty Mpologoma yafulumya oluyimba lwe yatuuma ‘Tewali alitwawukanya’ ng’alinga alaga nti ye ne Dr. Tee tebayinza kwawukana. Kyokka mu February wa 2016, Mpologoma kyamusukkako n’alumba Bukedde n’ategeeza nga bwe yali anoonya omusajja era amawulire gaategeeza buli gwe kikwatako naye agamba nti baamusukkako obungi n’atafunamu mutuufu.

Okuwasa Bashabire, Dr. Tee yalekawo n’omukyala omulala, Grace Malaika ng’ono yabeeranga nnyo naye naddala ku mikolo gye baabanga bamuyise ate nga Betty abeera nnyo naye mu by’emirimu. Bwe yawasa Bashabire, bonna baabula eri abantu okuggyako Betty obw’olumu lwe beekanganga nga basisinkanye ku mikolo gye balina okuyimba bombi. Betty yategeezezza Bukedde nti, ‘Nze first lady era nze nakimanya dda essaawa yonna nti ne bwe kiriba kiki oyo ye wange.

Kati nno tolina ky’obuuza!’ Dr. Tee ne Betty baakoze n’oluyimba lwe bayita Fasi fasi mwe bayimbira nti; .. ‘leka tubayiteko katono..’ n’ebigambo ebirala ebiraga abantu abalinga abaagalana. Wadde Mpologoma yategeezezza nti olwo luyimba buyimba, gye buvuddeko yategeezezza Bukedde nti ye ne Dr. Tee baddamu dda okwagalana.

DR. TEE ABYEGAANYI Waliwo abaali bagamba nti Dr. Tee ne Bashabire baayawukana kyokka ebyo Dr. Tee yabiyise bya bwewussa. Ono eyasangiddwa ku situdiyo ye eya Song Factory e Mengo gye buvuddeko yategeezezza nti, muntu wa buvunaanyizibwa atayinza kuzunga bw’atyo.

Muka Dr. Tee ow’empeta ayan ukudde Betty Bukedde yayogedde ne Bashabire ali e Bungereza mu budde buno n’agamba nti abatamwagaliza Dr. Tee be bazunza ehhambo nti baayawukanye. “Dr. Tee n’oyo Betty baakoze bukozi luyimba naye tebalina kirala kibagatta.

Betty ne Kazibwe baayawukana bubi nnyo ekitali kyangu kya kumuddira mu bya mukwano okuggyako eby’emirimu.” Betty Mpologoma ne Dr. Tee lwe bAasisinkana Baasisinkana mu 1999 mu situdiyo za VCL ekwata emizannyo gya Ebonies mu biseera ebyo nga Dr. Tee pulodyusa mu VCL.

Mpologoma agamba nti mu Ebonies yali muyimbi. Dr. Tee yayagala nnyo Betty olw’okumanya ennyo okuyimba n’eddoboozi eddungi lye yafunira mu kkwaaya z’Abadiventi naddala bwe yali akyali muyimbi mu kkanisa ya Najjanankumbi SDA gye baayimbiranga n’omugenzi Martin Angume ne Phoebe Nassolo ng’ono ye mukulu wa Betty Mpologoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...