TOP

Ebyatabudde ab'e kibuli okugoba kamulegeya

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2018

Ebyatabudde ab'e kibuli okugoba kamulegeya

Deb2 703x422

Sheikh Kamulegeya (wakati) ng’ali ne Lubega Kaddunabbi (ku ddyo) mu kusaala.

OBUKULEMBEZE bw’e Kibuli okutuuka okugoba Sheikh Obed Kamulegeya ku kifo ky’abaddemu eky’okukulira Bamaseeka mu ggwanga, abadde amaze emyaka ebiri nga takwatagana nabo.

Akakuubagano kaatandika ku nkomerero ya 2015 era ekimu ku byabatabula zaali kampeyini z’Obwapulezidenti ezaali zitandise ekiseera ekyo. Embiranye yeeyongera era we baamugobedde nga yaakamala Iddi ssatu zonna nga tazisaalira Kibuli. Erigenda e Kibuli abadde yalitta ng’asinga kubeera mu muzikiti gwa Bukoto – Nateete era kibadde kyangu gyali okusisinkana Mufuti e Kampalamukadde Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje okusinga okusisinkana Omulangira Kassim Nakibinge ow’e Kibuli.

Sheikh Nuhu Muzaata mu kulangirira okuwummuzibwa kwa Kamulegeya yagambye nti asikiziddwa Sheikh Mohammed Lunaanoba. Baalumirizza Kamulegeya nti alya mu lulime ne mu luzise; nga bw’ava e Kibuli ate akukuta n’ab’e Kampalamukadde.

Kamulegeya yasooka kufuna butakkaanya n’obukulembeze e Kibuli nga buva ku nteekateeka za gavumenti okuwa ab’e Kibuli ekyapa ky’omuzikiti gw’oku William Street ogwali gwatundwa wabula Pulezidenti Museveni n’akinunula okuva mu mikono gy’omusuubuzi Drake Lubega.

Kamulegeya yali ayagala omukolo gutegekerwe Kibuli kyokka ng’abamu ku bakulembeze bagamba nti ekyo kyali kijja kutaputibwa bubi kubanga akaseera kaali ka kampeyini. Ku nkomerero omukolo gw’okuwaayo ekyapa baagutegekera Kakiri era Pulezidenti Museveni n’akwasa Kamulegeya ne banne kkopi y’ekyapa kyokka abakulembeze ab’oku ntikko e Kibuli, omukolo tebaagwetabaako.

Ensonda e Kibuli zaategeezezza nti ekirala ekyabatabula gwe mukolo gwa Zakat ogwategekebwa ku Africana era Kamulegeya ng’omukulembeze w’ekibiina kya House of Zakat and Waqf yaguwomamu omutwe.

Ku mukolo guno Pulezidenti Museveni yawa ekibiina kino obukadde 400. Omuyima w’ekibiina kino Omulangira Nakibinge yali asuubirwa okubeerawo ku mukolo guno naye teyasobola. Kamulegeya kye yaddamu okuwulira, be bakulembeze e Kibuli okussaawo ekibiina kya Zakat ekyabwe era olukonko ne lweyongera.

Omu ku bakulembeze b’Obusiraamu eyasabye amannya galekebwe yategeezezza Bukedde nti: Sheikh Kamulegeya abadde awakanya ekya Jjajja w’Obusiraamu (Omulangira Nakibinge) okutwalibwa ng’Omukulembeze w’enzikiriza ng’agamba nti Obulangira bulina okwawulwa ku bumanyi mu by’eddiini era ng’alina endowooza nti abamanyi mu by’eddiini be balina okusoosowazibwa;

ekintu ekyanyiiza ennyo ab’e Kibuli. Ekyamala eggobe mu kibya, ye Kamulegeya okulwala n’atwalibwa e Nairobi n’ajjanjabwa kyokka bwe yakomawo ng’assuuse abakulembeze abakulu e Kibuli abasinga tebaagendayo kumukulisa bulwadde. Mufuti Mubajje yeesitula ne ttiimu ye ne bamukyalira e Kawempe okuva olwo n’atandika okusemberera ennyo aba Old Kampala. Kamulegeya bwe yatuukiriddwa yagambye nti tajja kwanukula ku byalangiriddwa Kibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top1 220x290

KCCA ekyusizza siteegi za ttakisi...

KCCA ekyusizza siteegi za ttakisi mu ppaaka

Rem1 220x290

Omusajja asse muganda we gwe yasuze...

Omusaj ja asse muganda we gwe yasuze naye mu nnyumba

Jangu3 220x290

Opa Fambo abala kaki n'Abazungu?...

Opa Fambo abala kaki n'Abazungu?

Bes1 220x290

Abafumbo babattidde mu nnyumba...

Abafumbo babattidde mu nnyumba

Tip1 220x290

Rema akangudde ku Doboozi agambye...

Rema akangudde ku Doboozi agambye kati mukazi eyetengeredde atakyalina ky'atya