TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Bebe Cool ne Irene Namatovu beesunga kuwangula ngule mu mpaka za AFRIMA.

Bebe Cool ne Irene Namatovu beesunga kuwangula ngule mu mpaka za AFRIMA.

By Martin Ndijjo

Added 22nd November 2018

Abayimbi Bannayuganda abali mu mpaka z'okuyimba eza AFRIMA beesunga ngule.

Ed 703x422

Bobi Wine ne Irene Namatovu mu kibuga Accra

Ng’ebuula ennaku biri okutuuka ku mukolo gy’okukwasa abawanguzi mu mpaka z’okuyimba eza All Africa Music Awards 2018’  (AFRIMA) engule zabwe ku Lwomukaaga luno nga November 24 .

Irene Namatovu omu ku bayimbi Bannayuganda abali mu mpaka za AFRIMA  mutaka mu kibuga Accra ekya Ghana awagenda okubeera omukolo gw'empaka ez'akamalirizo era ono yeesunga kuvaayo na buwanguzi.

Ono yeegatiddwako Bobi Wine naye eyatuuse ng'ono yayitiddwa okubaganya ebirowoozo ku nkulaakulaana ya myuziki mu Africa era wakwetaba ne ku mukolo ogwa kamalirizo.

Namatovu avuganya ku ngule biri okuli; omuyimbi omukyala asinga okuyimba mu buvanjuba bwa Afrika (Best Female East Africa) ate Oluyimba lwe ‘Nsambila nyuma nga janzi’ luvuganya ku ngule y’oluyimba lw’obuwangwa olusinga (Best Artist, Duo or Group in African Traditional).

 ebe ool mu nnyonyi ngagenda e hana Bebe Cool mu nnyonyi ng'agenda e Ghana

 

Bebe Cool avuganya ku ngule y’omuyimbi omusajja asinga okuyimba mu buvanjuba bwa Afrika (Best Male East Africa) era ku ngule eno attunka n’abayimbi ab’amannya omuli n’Omutanzania Diamond Platnumz

Ono era avuganya ne ku ngule ya ‘Best Artist / Group in African Rock’ ate vidiyo y’oluyimba lwe Freedom nayo evuganya ku ngule ya vidiyo esinga mu Afrika (Best African Video)

Bannayuganda abalala abavuganya mu mpaka zino kuliko; Sasha Vybz eyakola vidiyo ya Freedom avuganya ku ngule ya bakozi ba vidiyo abasinga bayite ‘video director’.

Sheebah Karungi ne Sandra Nankoma nabbo bavuganya ne Namatovu ku ngule y’omuyimbi omukyala asinga okuyimba mu buvanjuba bwa Afrika (Best Female East Africa)

Nankoma era avuganya ne ku ngule y’omuyimbi omukyala ayimba ennyimba ezisinga okuzaamu abantu essuubi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...