TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyongedde omuyigo ku bafera ne bamansa ssente

Poliisi eyongedde omuyigo ku bafera ne bamansa ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 24th November 2018

Poliisi eyongedde omuyigo ku bafera ne bamansa ssente

Kat2 703x422

Ebitongole byokwerinda byongedde amaanyi mu kukwata abafere ababba Abazungu mu ddiiru za zaabu, olumala ne bamansa ssente. Mu bikwekweto bino mwe bayooledde abakulira, Hajji Baker nga mu kiseera kino akuumirwa Kireka ng’okubuuliriza bwe kugenda mu maaso. Hajji Baker yakwatiddwa ennaku ssatu emabega nga yali yakwatibwako kyokka n’agaana okuddayo okweyanjula ku poliisi.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti Hajji Baker y’akulira ekikoosi ky’abafere ekibba Abazungu nti kyokka ye obutafaananako n’abavubuka abamansa ssente nga bamaze okufera, abeera mu bulamu bwa kimpowooze era ofiisi ze ziri Kololo gy’asinziira okukola emirimu gye. Avuga emmotoka za bbeeyi era alina ebyobugagga eby’enjawulo mu Kampala n’emiriraano. Agamu ku mayumba ge gasangibwa mu Kansanga.

Abamu ku battuunka n’emisango gy’obufere Omugagga SK Mbuga n’okutuusa kati akyakuumirwa mu kkomera e Dubai nga kigambibwa nti yafera Omuzungu okuva e Sweden. Omuzungu ono ng’amannya ge ye, Sten Heinsoo 71, yanyagibwa obuwumbi 23, ng’omusango gwe gwasibya SK Mbuga.

Munnayuganda omulala Abraham Luzzi naye gyebuvuddeko yaggalirwa mu kkomera e Dubai nga bamulumiriza nti yaggya ku Muzungu ensimbi eziri mu bukadde ng’amusuubizza okumuguza zaabu nti kyokka yali amufera.Wiiki eno, poliisi yazingizza omuvubuka eyeeyita Don Nasser kyokka ng’amannya ge amatuufu ye Nasser Nduhukire n’emukwata oluvannyuma lw’okufera Omumerika Johny Hill doola 700,000 ng’amusuubizza okumuguza zaabu kyataakola.

ENGERI ABAFERE GYE BALUKA DDIIRU NE BABBA ABAZUNGU

Ekisooka, ddiiru zino zibeeramu abantu abawerako omuli, abaserikale abayamba ku bafere bano okuva mu buzibu singa baba bakwatiddwa. Abafere bwe baziga Omuzungu alina ssente, basooka kumutega muwala, ng’omuwala ono omulimu gwe omukulu kuketta musajja ono n’amannya ssente zaalina olwo n’ajja n’ababuulira ne batandika okupanga.

Eky’okulabirako, mu musango gwa SK Mbuga, muka Mbuga yennyini, Jalia Birungi ye yakozesebwa n’asendasenda Omuzungu okumumatiza nga Mbuga bw’asuubula zaabu era gye byakkira nga Omuzungu abbiddwa obuwumbi bw’ensimbi 23.

Mu musango oguliwo ogwakwasizza Don Nasser, omukazi Mastullah Mutaasa ye yayanjulira Omumerika Don Nasser nga bw’ali omusuubuzi wa zaabu era ddiiru n’etandikira awo era gye byaggweera, nga Omuzungu bamubbye.

Abakazi abakozesebwa bamatiza Abazungu ku bikwata ku zaabu wa Afrika gwe boogerako ng’ali ku layisi ennyo bw’ogeraageranya n’ow’amawanga amalala era kino kiwaliriza Omuzungu eyazze ng’ayagala zaabu mutono okwongera ku bungi bw’agula kuba akibalamu ng’alaba afuna kiralu kyokka gyebikkira ng’abbiddwa.

Abafere olumala okumatiza Omuzungi nti balina zaabu, batandika okumwefunza era wano batandika okuteekamu ssente ezaabwe okusooka, okugeza, Omuzungu bamuggya mu wooteeri gy’abadde asulamu ne bamufunira eyaabwe, bamutambuliza mu mmotoka zaabwe ez’ebbeeyi, n’okukakasa nti talina muntu mulala gw’ayogera naye okuggyako abo bokka abali mu ddiiru.

Emirundi egisinga bano bamatiza Omuzungi nti zaabu bamuggya mu DRC Congo nti kyokka ebirombe gye bamusima biri mu bitundu omuli entalo era ne balaga obuzibu bwe bayitamu okutambuza zaabu ono okumutuusa mu Uganda.

Okulaga obuzibu buno kiyamba abafere okutiisa Omuzungu obutabasaba kugenda Congo yeetuukireyo mu bifo gye bamuggya, era wano emirundi egisinga akakodyo kaabwe kano kabakolera kubanga Omuzungu ebbanga lyonna abeera mu wooteeri nakumutambuza mu bifo bisanyukirwamu.

Okuviira ddala ku muntu akebera zaabu ono okukakasa oba mutuufu, bonna baba mu diiru era kuno bagattako eky’Omuzungu okumulamulira omuwendo omutono n’acamuka bw’ageraageranya n’amawanga ag’enjawulo gy’aba yalamuzaako edda wano alaba ng’amagoba akubisaamu ebiri n’asasula.

Mu nteeseganya ezibeerawo, abafere basooka kuleeta zaabu mutuufu era Abazungu bamukebera ne bakizuula nti mutuufu kyokka gwe babawa oluvannyuma bwe kiba nti bamubawadde, baba baamukyusizza nga babateereddemu mufu.

Ekiseera Omuzungu ky’amala ng’ali n’abafere bano bamulaga nti balina abanene be bakolagana nabo mu Gavumenti era oluusi babalaga obutambi oba ebifaananyi nga bali n’abakulu ng’abamanyi n’okubamatiza nti abakungu bano bakolagana nabo mu bizinensi, ekyongera Abazungu okubassaamu obwesige.

Emirundi mingi Abazungu bano abajja wano okugula zaabu tebabeera na layisinsi zibakkiriza kumusubula era kye bakola, bwe bamala okusasula, nga bagenda e Dubai okulinda zaabu waabwe kyokka bakanda kulinda nga tebalaba wano we batandikira okutegeera nti bababbye.

Poliisi eyogedde Vincent Ssekate, omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ne poliisi y’Ensi Yonna mu ggwanga (Interpol) yagambye nti; Abantu abagula zaabu bayite mu mitendera emituufu, era nga bateekeddwa kuyita mu minisitule y’ebyobugagga eby’omu ttaka ebalage abantu abatuufu abalina layisinsi ezibakkiriza okutunda zaabu mu Uganda.

Mmotoka za Nasser bazikutte Basoose kukwata mmotoka kika kya Cross- Country nnamba UBE 602H eno bagisanze mu Spear Motors e Nakawa gye yabadde agitutte okukola ‘savisi’.Bakute Rolls Royce eno bagisanze Buwate mu Kira divizoni nga baagisanze ne Jamir

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...