TOP

Mayanja amize Ssaalongo n'omuyizi wa S2

By Musasi wa Bukedde

Added 24th November 2018

Mayanja amize Ssaalongo n'omuyizi wa S2

Fub2 703x422

SSAALONGO afiiridde mu mugga n’omuyizi gw’abadde asomosa mu mazzi g'omugga Mayanja mu disitulikiti y'e Wakiso ogwabbomose ku Ssande. Ssaalongo Jackson Ssempiira ow'e Gobero mu ggombolola y'e Kakiri mu disitulikiti y'e Wakiso yafiiridde mu mazzi n’omuyizi wa Family Preservative Alliance e Gobero bwe yabadde amusomosa okudda awaka ng'ava ku ssomero.

Kigambibwa nti ku Lwokuna ku ssaawa 1:00 ez’olweggulo, Charlotte Nakanwagi omuyizi wa S.2 yabadde ava ku ssomero wabula n'atya amazzi n'asaba Ssempiira okumuyambako okumusomosa adde ewaabwe e Kyengeza - Gobero.

Okusinziira ku Fred Katumba eyabadde okumpi n’omugga yategeezezza nti, omuwala yabadde akankana olw’okutya nga yeebuuza w'agenda okuyita okusala okudda awaka. Ssempiira yasazeewo okumusomosa era baabadde batuuka wakati mu mugga nga batambula mpolampola kyokka ng'amazzi g'abatuuse mu kiwato, Nakanwagi n'atya nnyo ne yenyweza ku Ssempiira ne bagwa wansi.

Katumba yategeezezza nti bombi baawanise emikono mu bbanga ng'ettosi libakutte naye nga tewali ayinza kubataasa Katumba n'akuba enduulu naye nga tewali ataasa. Omu ku batabani b’omugenzi Kato Ssentamu yategeezezza nti yafunye essimu ng’emutegeeza nga kitaawe we afiiridde mu mugga. “Nsula Namunge okuliraana ekyalo taata kw’abeera natuuse awaka nga taliiwo nga n’essimu ye", Ssentamu bwe yayongeddeko.

ABADDE ATERA OKUSOMOSA ABANTU Stecia Nakibuuka yategeezezza nti okuva ekkubo lya Gobero - Masuliita lwe lyagwamu ku SsandeSsempiira abadde abeera ku mugga n'ayamba okusomosa abo ababa balemereddwa ne bamuwa ssente.

Kino kyawaliriza akulira poliisi y'e Gobero okukwata Sempiira ne banne abalala mukaaga ne babasiba wabula oluvannyuma ne babata nga balagiddwa obutaddamu kwenyigira mu kiyita mu mugga kuba bayinza okufiiramu

Ssentebe w’e Ggombolola y'e Kakiri, John Bosco Tebandeke yategeezezza ng’obulamu bw’abantu bwe bugenda okufiira mu mugga singa Gavumenti tevaayo kuyamba ku bantu kukola ku mugga guno. Yategeezezza ng’abantu abamu be bassa obulamu bwabwe mu matigga nga basala omugga guno n'abasaba okwesonyiwa oluguudo luno bakozese olulala okutuusa nga Gavumenti erukoze. Abazadde b'omugenzi Juliet Nalukenge ne Livingstone Kabiito bakyalemeddwa okusomoka okuva e Kyengeza okudda e Gobero olw’okubulwa we bayita. Emirambo teginnannyululwa.

OMUYIZI EYAGUDDE MU LWAJJALI Ate AMON MUKASA agamba nti, balubbira ba poliisi bannyuludde omulambo gw’omuyizi eyagudde mu Lwajjali ku Lwokusatu nga kyabatwalidde akaseera okumuzuula olw'amazzi agadduka ennyo. Okuviira ddala ku lunaku lwe yagwamu baatandika okumunoonya okutuuka ku Lwokuna ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ne baguzuula ku ludda lw’e Luweero.

Omugenzi Joshua Sengoba abadde yaakatuula ebigezo bya S4 ku ssomero lya Namulonge SS mu disitulikiti y’e Wakiso ng'abadde mutabani wa Vicent Kisinde ne Gatrude Nakigudde ab'e Buso – Namulonge. Akulira poliisi y’e Naggalama Grace Nyangoma ategeezezza nti, tebagenda kukkiriza bantu kusemberera mugga guno okutuusa ekitongole ky’ebyenguudo lwe kinaabategeeza ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abatatayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...

Smartp1 220x290

Uganda egenda kutandika okukola...

UGANDA egenda kutandika okwekolera amasimu ekkolero eriri mu kuzimbibwa mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve...

Laga 220x290

Enfa y’omukungu wa UN etabudde...

ENFA y’omukungu w’ekibiina ky’Amawanga amagatte etabudde aba famire nnamwandu ne bamukasukira ebintu n’abaana be...