TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gazzeemu okwata omufere wa zzaabu omulala

Amagye gazzeemu okwata omufere wa zzaabu omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2018

Amagye gazzeemu okwata omufere wa zzaabu omulala

Dab1 703x422

Malong ng’alaga zzaabu gwe bafererako Abazungu.

ABAZUNGU batadde Gavumenti ku nninga olw’abantu baabwe abaferebwa Bannayuganda obutitimbe bwa ssente. Mu kwanukula, ebitongole by’ebyokwerinda bifungizza okubayoola bonna. Ensonda z’ebyokwerinda zaategeezezza nti ng’oggyeeko gavumenti okufuna okwemulugunya ku basuubuzi ba zaabu okuva mu mawanga ag’ebweru okubbibwa, zaabu wa Uganda abadde atandise okufuna obuzibu mu katale olw’abafere abatunda ow’ebicupuli, gavumenti n’esalawo ebayimukiremu.

Ku Lwokuna, bambega b’ekitongole ekya ISO, baakutte Lawrence Lual Malong Yor Jr 30, eyeeyita omugagga enzaalwa y’e South Sudan. Malong n’abalala abaasooka okukwatibwa bavunaanibwa okubba obuwumbi obusoba mu butaano ku musuubuzi w’e South Afrika. Malong baamuggye mu wooteeri emu e Kabalagala.

Aba famire ya Malong, baddukidde ku poliisi y’e Kabalagala ne baggulawo omusango gw’okuwambibwa kw’omuntu waabwe gwe baabadde bamaze ennaku nga banoonya. Col. Frank Kaka Bagyenda akulira ISO yakakasizza nti be baakutte Malong oluvannyuma lw’ebbanga nga bamuyigga olw’okwekobaana n’abantu abalala ne bafera omusuubuzi enzaalwa y’e Ethiopia naye ng’emirimu gye agikolera South Afrika, doola akakadde kamu n’ekitundu n’agattako nti waliwo n’abalala abakyanoonyezebwa.

Col. Bagyenda agamba abavubuka bano battattanye erinnya lya Uganda mu mawanga amalala kubanga abantu bangi okuva mu mawanga ag’ebweru n’emitala w’amayanja abazze beemulugunya ku bavubuka bano ababbaba nga bayita mu ddiiru za zaabu.

Omwezi oguwedde waliwo omusajja enzaalwa y’e Ethiopia, Alex Dessie nga musuubuzi wa ngoye e South Afrika eyaddukira mu b’ekitongole kya ISO nga yeemulugunya ku baserikale b’ekitongole kya poliisi y’ensi yonna basatu baagamba nti beekobaana n’abavubuka abalala ne bamunyaga ssente ezisoba mu buwumbi butaano (5,550,000,000/-) mu ddiiru za zaabu ez’ekifere.

Ono yannyonnyola nti alina mukwano gwe gw’akolagana naye mu bizinensi Abebe Engole 38 eyamusomeramu ddiiru ya zaabu nti efuna kiralu era nti ne Abebe okuyingira ekitimba kino yasooka kusisinkana omusajja enzaalwa ya South Sudan, Lawrence Lual Malong mu kibuga Juba.

Mu kikwekweto ISO kye yakola yakwata ekibinja ky’abasajja okuli; James Byaruhanga 40, abadde abakulira omutuuze w’e Kabowa gwe baali baakazaako erya Gavana, Patrick Ndenzi 21 munnansi wa Congo, Boniface Munagabe 34, Frank Ngabirano 33, Ummo Amati 38 ne Mike Lota 43.

Abalala kuliko; Walter Adenyo, Fred Ndayi 16, John Tumukunde 20, Robert Sseguya 30, Bruce Kamugisha 33, Junior Okungi, Sayid Musanji gwe bakozesa okukebera zaabu ne Benjamin Sande. Malong y’omu ku bavubuka abamaze akabanga nga boogeza abantu obwama olw’engeri gy’amansaamu ssente mu bifo ebisanyukirwamu. Ono yamanyika nnyo bwe yeekubya ebifaananyi n’okwekwata ku katambi nga yeebase mu bupapula bwa ddoola za Amerika n’akyeteekako nti ye muvubuka omuto asinga obugagga mu South Sudan.

Malong ali mu bizinensi ya zaabu era abadde atera n’okulaga mu bifaananyi by’ateeka ku mukutu gwe ogwa Face book era kiteeberezebwa nga yandiba nga yakwatiddwa mu kikwekweto kino ekyakoleddwa oluvannyuma lw’Abazungu okwemulugunya ku ngeri gye babba.

Ono abadde atera okutalaaga amawanga g’omu buvanjuba bwa Afrika gy’apangisa wooteeri ez’ebbeeyi mw’asula n’okulya obulamu. Gye buvuddeko nga bamukyazizza ku Ttivvi ya Citizen mu Kenya baamubuuza gy’aggya ssente z’amansa kyokka mu kwanukula yaddamu nti Yesu yazimuwa. N’agattako okwewaana nti y’asinga obugagga mu bavubuka era ye wooteeri z’apangisa asula mu bifo ba pulezidenti bye basulamu (Presidential suite), ayambala essaawa y’oku mukono ya doola 10,000 n’ebirala.

EBYA DON NASSER BIWANVUYE; Ku Lwokutaano, abaserikale b’ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka katono beekube amasasi olwa fayiro ya Nasser Nduhukire amanyiddwa ennyo nga Don Nasser Izzo eyakwatiddwa olw’okufera Omumerika Jonny Hill doola 700,000.

Mu bbanga Nasser lye yaakamala mu mikono gya poliisi, kyategeerekese nti fayiro ye yaakakyusa abaginoonyerezaako emirundi esatu. omuserikale eyasooka okuginoonyerezaako baali bamuyita AIP Tabu kyokka ono ekyagimuggyisaako teri akinnyonnyola.

Baagiwa Moses Muwanguzi eyagibaddeko we baakwatidde mmotoka za Nasser bbiri okuli Cross Country Mercedes Benz ebalirirwamu akawumbi kalamba n’endala ey’ekikungu Rolls Royce. Kyokka we bwazibidde ku Lwokutaano ensonda mu kitongole kino zaabadde zitutegeezezza nti, fayiro yabadde eweereddwa omuntu omulala y’aba anoonyereza ku musango.

Ekituufu ekigenda mu maaso tekinnamanyika wabula ensonda zigamba nti, Nasser yasuubizza okugaba doola 50,000 eri omuntu yenna amufulumya ekkomera. Kigambibwa nti wadde Nasser yakwatibwa ku musango munene, bwe yatuusibwa gye baalina okumuggalira, baamuwa ekisenge asula nga mukungu n’essimu ze azisaba ne bazimuwa n’akubira bayagala amasimu n’okwogerezeganya n’abalala abamubanja.

BABIYINGIZZAAMU OMUKUNGU W’AMAGYE Okusinziira ku nsonda, waliwo omukungu w’amagye aduumira ekimu ku bibinja ali emabega wa Nasser era alwana ennyo okulaba ng’ava mu kkomera.

Omukungu ono ali ku ddaala lya Colonel (amannya gasirikiddwa). Okusinziira ku nsonda, Don Nasser omukungu ono yamugulira emmotoka bbiri ng’akasiimo ku by’azze amukolera. Emmotoka emu kika kya Toyota Alphard n’endala ey’ebbeeyi Mercedes Benz ML.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...