TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro awadde Poliisi amagezi ku mbeera y'ennyanja

Katikkiro awadde Poliisi amagezi ku mbeera y'ennyanja

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2018

Katikkiro awadde Poliisi amagezi ku mbeera y'ennyanja

Hip2 703x422

Katikkiro ng'ayogera

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga awadde  poliisi amagezi bulijjo okubeeranga n’amaato agalawuna ennyanja buli kadde naddala mu bitundu byabyo okuli abantu abangi n’ebifo ebyeyunirwa abaddigize.
 
Bino yabyogeredde ku Kigunga e Seeta- Mukono ku mukolo abeddira enkima kwebajjaguliza obuwanguzi bwebatuukako bwe bawangula engabo y’’ebika omwaka guno ng’omukolo gwabadde ku kifo ekiyitibwa Murs Country Gardens olunaku lw’eggulo.
 
“Poliisi bulijjo esaana okubeera n’amaato agaseyeeya nga galawuna naddala  mu bifo awali abantu abangi. Nanoonyeza ku muddumizi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Muzzukkulu munamwe ow’enkima Kafeero era bakoze omulimu mulungi kyokka okulawuna kuno kusobola okutaasa ebintu bingi,” Mayiga bweyategezezza.

Templar Junior Bisase ne mukyala we Sheilah Bisase nga kati mu kiseera kibo bonna bagenzi oluvannyuma lw'okufiira mu nnyanja

Katikkiro Mayiga yayongedde naawa bonna abasabalira ku nnyanja amagezi nti  buli ayingira  eryaato abeere n’akakooti akaseyeya neyenyamira nti omuntu ayinza atya okuyingira obwengula bw’ennyanja Nalubaale nga talina kakooti kaseyeeya (jaketi) akasobola okumutaasa mu budde obuzibu!

 
“Bnnanyinni  maato bakome okutikka akabindo naawe omuntu bwolaba ng’eryaato litisse akabindo liveeko kubanga bwerikuleka si y’enkomerero y’obulamu bwo. Amaato galina okuba nga malamu bulungi kubanga eryato kidduka ng’ebirala nga lisobola okufuna obuzibu.Obutasanyuka nnyo ku lyaato naddala nga bamaze okunywa kubanga obeera tokyalina bwetengereze,” Katikkiro Mayiga bweyagaseeko.
 
Katikkiro yebazizza Katonda eyawonyezza obulamu bw’Omulangira David Wasajja, Omutaka Namuyimba Ttendo Keeya Muteesasira omukulu w’ekika ky’engo, Abakungu John Fred KIyimba Freeman, Hope Mukasa n’abalala ate naasasira famire zaabo abafiriddwa abantu baabwe.
 
Abamu ku bafudde kuliko Templa Junior ng’ono ava mu famire Bisase e Kira nga bano bakojja ba Kabaka, ye Yoweri Musumba ng’ono abadde ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe era omugagga w’e Kampala n’e Mityana n’abalala bangi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...