TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amyuka sipiika e Kalungu akwatiddwa ku by’okwekalakaasa

Amyuka sipiika e Kalungu akwatiddwa ku by’okwekalakaasa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2018

Okusinziira ku Mable Tweheyo akulira ba mbega ba poliisi e Kalungu, oluguudo luno lwazibiddwa mu bitundu okuli Kasambu, Birongo ne mu kasenyi akamanyiddwa nga mu Ngalagazi ekyavudde ebyentambula okusannyalala okumala ekiseera era n'akakasa nti Kansala Mugabo agenda kubayambako okuzuula abeenyigidde mu kikolwa kino.

Deputysipiikadavidmugabowakatikupoliisiekalungungalinesipiikaabdulbbaalekukkonokuddyoyekitaawelugazoora 703x422

David Mugabo (wakati) ku poliisi e Kalungu ng'ali ne Sipiika Abdul Bbaale (ku kkono) ne kitaawe Lugazoora.

POLIISI y'e Kalungu eggalidde amyuka Sipiika wa Disitulikiti eno ku bigambibwa nti y’omu ku baaduumidde abatuuze okwekalakaasa olw'embeera y'oluguudo lwabwe oluli mu mbeera embi.

David Mugabo ng'era ye Kansala w'eggombolola y’e Lwabenge ku disitulikiti, yakwatiddwa ab'ebyokwerinda nga bamulumiriza okukuliramu abavubuka ne basima ebinnya n'okusuula emisanvu nga beeyambisa emiti gy'amasannyalaze mu luguudo oluva e Lukaya okudda e Kagologolo mu Bukomansimbi.

Okusinziira ku Mable Tweheyo akulira ba mbega ba poliisi e Kalungu, oluguudo luno lwazibiddwa mu bitundu okuli Kasambu, Birongo ne mu kasenyi akamanyiddwa nga mu Ngalagazi ekyavudde ebyentambula okusannyalala okumala ekiseera era n'akakasa nti Kansala Mugabo agenda kubayambako okuzuula abeenyigidde mu kikolwa kino.

Abatuuze n'abenganda ze okuli James Ntambala, Jumah Byansi, James Binagwaho ne kitaawe James Lugazora abaasangiddwa ku kitebe kya poliisi e Kalungu gye yaggaliddwa, baategeezezza nti omuntu waabwe yakwatiddwa ku Lwokutaano akawungeezine bagamba nti baamulanze bwemage  kubanga talina kakwate konna ku bantu abaakoze effujjo lino.

Ssentebe wa Disitulikiti eno, Richard Kyabaggu naye eyasangiddwa ku poliisi e Kalungu, yagambye nti ensonga zino baazirekedde abakwasisa amateeka kubanga birimu okwonoona ebintu bya Gavumenti ng'okuziba oluguudo n'okweyambisa obubi emiti gy'amasannyalaze.

Bakansala okuli Charles Sserwanja ow'e Bukulula,Yasin Ssempijja ow'e Kyamuliibwa, Steven Ssemanda owa Kalungu Town Council,Charles Mutebi Kalungu Rural ne David Ssegawa owa LCIII e Lwabenge nabo abaabadde ku poliisi nga bakulembeddwa Sipiika Abdul Bbaale, baalaze obutali bumativu olwa munnaabwe okukwatibwa.

Wabula oluguudo olwakwasizza Kansala Mugabo si lwa disitulikiti, lutwalibwa ekitongole kya UNRA naye nga mu kiseera kino luli mu mbeera mbi olw'ebinnya. Kyokka gye buvuddeko akulira UNRA,  Muky. Allen Kagina bwe yabadde alambula enguudo ezigenda okukolebwa mu Greater Masaka, yalaga nga luno lwe lumu ku ziri ku lukalala lw'ezigenda okukolebwa ng'omwaka guno tegunnagwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’