TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamasaka bafunye essuubi ly’okwongezebwa ku balamuzi

Bannamasaka bafunye essuubi ly’okwongezebwa ku balamuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2018

Matovu yategeezezza nti omujjuzo gwa fayiro gwe basanze e Masaka guvudde ku kubeera nga Masaka yasigaza omulamuzi wa kkooti enkulu omu nga tasobola kuwuliriza misango gyonna egiva mu disitulikiti 9 ate nga n’oluusi egimu nga egy’ettaka gyetaaga obudde bungi.

Mukyalamatovuwakatinyakikongorokuddyonabakungubakakiikoabalala 703x422

Muky. Matovu (wakati) Nyakikongoro (ku ddyo) n'abakungu b'akakiiko abalala.

Abakulira akakiiko ka Judicial Service Commission akakola ogw’okulonda abalamuzi basuubizza mu kaseera katono okwanukula okusaba kw’abantu mu Greater Masaka okwongera ku nnamba y’abalamuzi mu kkooti enkulu e Masaka.

Kyaddiridde omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Winniefred Nabisinde okusaba omuwendo gw’abalamuzi okwongerwako olwa fayiro z’emisango egya nnaggomola egimwetumyeeko ng’okuva munne bwe yatwalibwa n’asigalawo yekka emirimu gyakonziba.

Bino byayogeddwa Muky. Norah Matovu Winyi, akulira okukwasisa empisa mu kitongole kino eyakiikiridde Justice Benjamin Kabiito akulira akakiiko kano nga baasinzidde ku Hotel Brovad mu kibuga Masaka we baakubye enkambi okumala ennaku ssatu okwongera okuwulira okwemulugunya kw’abantu ku kitongole ekiramuzi n’okulaba engeri gye bayinza okulongoosaamu.

Matovu yategeezezza nti omujjuzo gwa fayiro gwe basanze e Masaka guvudde ku kubeera nga Masaka yasigaza omulamuzi wa kkooti enkulu omu nga tasobola kuwuliriza misango gyonna egiva mu disitulikiti 9 ate nga n’oluusi egimu nga egy’ettaka giba gyetaaga obudde bungi ekiviirako abantu abawawaabirwa n’abavunaana obutafuna bwenkanya mu budde. Yakakasizza nti ensonga eno bagitutte nga nkulu nga bwe batuuka e Kampala gye bagenda okusooka okutunulamu.

Omubaka Rosemary Nyakikongoro mmemba ku kakiiko yanenyezza ababaka ba palamenti okusirika ng’abantu baabwe bavundira mu makomera n’abasaba okuvaayo basse gavumenti ku nninga ekizibu kino kikolebweko..

Gye buvuddeko akulira ekkomera ekkulu e Masaka, Deogratious Ogwapit yasinziira ku kkooti enkulu e Masaka mu kutongoza olutuula olw’enjawulo okuwozesa emisango gya naggomola 50 n’ategeeza ng’enkola ya kkooti ey’akasoobo bw’ereese omujjuzo gw’abasibe mu kkomera lino nga mu kifo ky’abasibe 250 balina abasibe abasoba mu 800.

Akakiiko kagenze okujja e Masaka ng’okwemulugunya kw’abatuuze ku ngeri abasibe gye batolokamu mu kkooti eno, enguzi, obwassemugayaavu mu balamuzi n’ebizibu ebirala kuyitiridde.   

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...