TOP

Ogwa Shumuk gwongezeddwaayo

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2018

OMULAMUZI wa kkooti ya Buganda Road, Stella Amabirisi alagidde poliisi okuleeta mu kkooti fayiro y'omugagga wa Shumuk, Mukesh Babubhai okumanya wa okunoonyereza we kutuuse.

Katatumba7 703x422

Shumuk

Bya ALICE NAMUTEBI

 

OMULAMUZI wa kkooti ya Buganda Road, Stella Amabirisi alagidde poliisi okuleeta mu kkooti fayiro y'omugagga wa Shumuk, Mukesh Babubhai okumanya wa okunoonyereza we kutuuse. 

 

Shumuk akedde kweyanjula mu kkooti nga bwe yalagirwa kyokka looya wa gavumenti Mariam Njuki nategeeza omulamuzi nti talina fayiro ya musango guno. 

 

Njuki yagambye nti abakulira ebyokunoonyereza ku musango baabadde bakumuleetera fayiro y'omusango era bamutegeeze wa we batuuse n’okunoonyereza kyokka kkooti weetuulidde abadde tanabala.

 

Yasabye Omulamuzi Amabirisi amuweemu essaawa alinde aleeta fayiro naye omulamuzi n’agaana nga agamba nti kkooti terina kulinda bantu. 

 

Omusango yagwongezzaayo okutuusa nga December 14, 2018 nalagira nti ku olwo oludda oluwaabi okuba olwetegefu.

 

Shumuk avunaanibwa emisango 13 nga gyonna gyakujingirira biwandiiko n'ekigendererwa ky’okutwala Hotel Diplomat esangibwa e Muyenga eyali ey'omugenzi Bonny Katatumba. 

 

Shumuk yazze ne looya we David Bwambale era baategeeza kkooti nti betegefu okutandika okuwulira omusango. 

 

Oludda oluwaabi lugamba nti  April 17, 2018 Shumuk yajingirira ebiwandiiko nga biraga nti omugenzi Katatumba mukyala we Anne Grace Katatumba n'abaana babwe okuli Angella Katatumba,  Ian Katatumba , Rugirwa ne ASP George William Karyegira  bawaayo mikono gye hotel Diplomat. 

 

Kigambibwa nti Shumuk teyakoma ku kujingirira biwandiiko byokka, nga April  17, 2018 yabitwala ne mu kkooti e Makindye nabiwaayo ng’obujulizi wabula emisango gyombi yagyegaana era kkooti n’ekkiriza okumweyimirira ku ssente obukadde busatu. 

Omusango guddamu nga December 14, 2018.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...