TOP

Kayemba afaayo alabudde akakiiko k'Abayindi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2018

MMEEYA w’ekibuga ky’e Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo akaayuukidde akakiiko akassibwawo okulondoola ebyobugagga ebyali eby’Abayindi nadddala ebizimbe akamanyiddwa nga Custodian Board n’abalabula nti bwe babeera nga bajja kubba nakulabya bannansi nnaku e Masaka tekadda.

Bayindi 703x422

Ekizimbe e Masaka ,Lwasa ky'agamba nti yakigula ku Custodian Board.

Bya PHIONA NANYOMO NE TONNY KALYANGO


MMEEYA w’ekibuga ky’e Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo akaayuukidde
akakiiko akassibwawo okulondoola ebyobugagga ebyali eby’Abayindi
nadddala ebizimbe akamanyiddwa nga Custodian Board n’abalabula nti
bwe babeera nga bajja kubba nakulabya bannansi nnaku e Masaka tekadda.

Asinzidde mu lukiiko lw’ekibuga olw’enjawulo naagamba nti
Bannamasaka abawerako kati bali mu kusattira olw’ebikolwa by’akakiiko
kano akatandise okutunda ebintu byabwe mu ngeri emenya amateeka era nga
abawerako beeraliikirivu olwokuweebwa amabaluwa agabalaalika okwamuka amangu ebizimbe mwe bakolera kuba byatundibwa dda.


Ekizimbe ky’abakyala abeegattira mukibiina kya Nawou (National association of Women in Uganda) nga ku kino kwe kusangibwa etteerekero ly’ebitabo lyokka mu Masaka, ekifo ewakuumirwa abaana n’amaduuka amalala ky’ekimu ku bigambibwa okutundiddwa aba Custodian Board nga kino kyaguzibwa omugagga Emmanuel Lwasa.


Okusinziira ku mmeeya Kayemba Afaayo, akakiiko kano kassibwawo okulondoola ebizimbe ebyali eby’Abayindi kyokka nga mu kiseera kino nga contract yaako enaatera okuggwako kaalagirwa okuwandiika alipoota ekwata ku mirimu gye kabadde kakola okuviira ddala lwe kassibwawo.


“Mu buvunaanyizibwa buno tetukasuubira kubaako kintu kyonna kye katunda
kyokka twalabidde awo nga bannamateeka ba Nsubuga Owor and company
advocates bayisizza ekiwandiiko ekiragira abakolera mu kizimbe ky’abakyala okukyamuka nga bakolera ku biragiro bya Lwasa,” Kayemba Afaayo bwe yategeezezza olukiiko.

Wabula Lwasa agamba nti ekizimbe kikye era alina enteekateeka eyokukikulakulanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...