TOP

Ab'omu Kisenyi tebalina mazzi mayonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2018

“Abatuuze ba Kawempe zooni mu muluka gwa Mengo Kisenyi III amazzi ga taapu gavumenti ge yali etuwadde baagatusalako kati abatuuze bakozesa mazzi ge basena ku nzizzi z’ensulo agajjudde obucaafu ate ne kaabuyonjo z’olukale ez’okusasulira abatuuze baazesamba b’eyamba mu buveera ne bamansa empitambi ekitadde obulamu bwaffe mu katyabaga”

Hawa2 703x422

RCC Namugenyi ng'ayogerako eri abatuuze

Bya GODFREY LUKANGA 

 

ABAKULEMBEZE okuva mu miruka ogwa Mengo Kisenyi I, II ne III, Nakasero I,II,III ne IV, Old Kampala n’ogwa Mengo basabye gavumenti okwongera ku taapu z’amazzi amayonjo ag’ebinusu aga ssente ensamusamu okutaasa abatuuze endwadde eziva ku mazzi amacaafu ge basena mu nzizi z’ensulo.

 

Mu lukiiko abakulembeze ba L.C.1 ne L.C.2 lwe babadde n’omubaka wa pulezidenti mu Kampala Central,  Hajati Hawa Namugenyi Ndege ku somero lya Nakivubo Blue P/S ku Mmande, baamuloopedde nga bwe balina obwetaavu bwa kaabuyonjo z’olukale abatuuze ze bagendamu nga tebazisasulira kubanga abasinga tebalina busobozi busasulira kaabuyonjo.

 

“Abatuuze ba Kawempe zooni mu muluka gwa Mengo Kisenyi III amazzi ga taapu gavumenti ge yali etuwadde baagatusalako kati abatuuze bakozesa mazzi ge basena ku nzizzi z’ensulo agajjudde obucaafu ate ne kaabuyonjo z’olukale ez’okusasulira abatuuze baazesamba b’eyamba mu buveera ne bamansa empitambi ekitadde obulamu bwaffe mu katyabaga” Adam Muganda, ssentebe wa Kawempe zooni bwe yategeezezza.

 

Ssentebe wa Kasaato zooni mu muluka gwa Mengo Kisenyi 2, Sunday Kiwana Nkoyoyo agambye nti okusomoozebwa kwe balina kwa midumu egitwala kazambi emitono egyabika buli enkuba lw’ettonya.

 empitambi n’eyanjaalira mu mayumba g’abatuuze egy’etaaga okukolebwako mu bwangu okutaasa obulamu bw’abatuuze.

 

Elizabeth Mutesi okuva mu muluka gwa Old Kampala yagambye nti waliwo obwetaavu bw’okuzimba kaabuyonjo ez’olukale mu paaka za takisi mu Kisenyi n’eri ku luguudo lwa Namirembe kubanga zikunganiramu abantu bangi kyokka nga tezirina kaabuyonjo.

 

Namugenyi yagumizza abatuuze nti ategedde okusomoozebwa okuli mu bitundu byabwe n’abasuubiza nga bwe bigenda okukolebwako mu bwangu okutangira endwadde eziva ku bucaafu nga baakusookera ku ky’amazzi amayonjo ne kaabuyonjo z’olukale.

 

Ku nsonga y’ebyokwerinda, Namugenyi yakubirizza abakulembeze okukubiriza abatuuze okuteeka ku mayumba gaabwe amattaala g’ebweru gasule nga gaaka mu kaweefube w’okunyweza eby’okwerinda mu kiseera kino nga tuyingira eggandaalo lya Ssekukkulu obumenyi bw’amateeka we bwe yongerera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...