TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namwandu wa Mawanda bamuggyeeko omuzindaalo mu kuziika

Namwandu wa Mawanda bamuggyeeko omuzindaalo mu kuziika

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Namwandu wa Mawanda bamuggyeeko omuzindaalo mu kuziika

Muk2 703x422

Namwandu Christine Mawanda (ku kkono) ng’aganzika ekimuli ku ssanduuko omuli omubiri gwa bba.

Namwandu w’omugenzi Fred Mawanda, Christine Mawanda bwe yakutte akazindaalo okubaako by’ayogera mu kuziika bba, yasoose kwebaza abantu ab’enjawulo abaamubeereddewo.

Yeebazizza Katonda okuwangaaza bba okumala emyaka 44 gy’afiiriddeko era ne yeebaza Katonda olw’ekiseera eky’emyaka 13 gye bamaze bombi nga tanobye. Yagasseeko nti; Okwambala gomesi enjeru n’ekitambaala ekya kyenvu tekyanguddeko bugwi, wabula mbadde nnina okubyambala okusiibula omwami wange ku mbaga ye esembayo.

Yeebazizza bannaddiini olw’okusabira omugenzi kubanga abadde akulembeza nnyo okusaba mu bulamu bwe. Bwe yatuuse ku kwogera ku baana b’omugenzi, yagambye nti alese abaana bana bokka ng’omukulu wa myaka 13, ate asembayo wa myaka 6. Bino tebaamulinze kubimalayo ne batandika okwogera era okukkakkana ng’amaloboozi gasaanikidde erya Namwandu eyalabise ng’alina ebirala bye yabadde ayagala okwogera, kwe kumuggyako akazindaalo.

Bino byabadde mu maka ga kitaawe w’omugenzi e Wabigalo Mityana. Abakungubazi baawuliddwaako nga boogera nti omugenzi yalese omwana asembayo ow’omwezi ogumu.

Abakungubazi baamaze eddakiika 30 nga beewuunaganya, okutuusa eyabadde omwogezi era atera okuyimba ku bafu, Ronnie Kafeero bwe yatandise okukooloobya ennyimba z’eddiini.

Wabula abalala baawolerzza namwandu nti yabadde mutuufu okwogera ku baana be bokka kubanga y’abadde omukyala ow’empeta ate nga bba yafudde tamwanjulidde baana balala. Edward Kayondo Ssentebe w’ekyalo Magala A bwe yakutte omuzindaalo yakkaanyizza n’abakungubazi n’ategeeza nti mu Buganda omuntu tabala baana era emyaka omugenzi gye yafiiriddeko kizibu okuba ng’alese abaana bataano bokka.

Yagambye nti baakukuma olumbe mu maka ge e Kampala abaana abalala balagibwe bwe baba nga gye bali. Ssentebe we Wabigalo, Hamidu Ssentumbwe yayogedde ku mugenzi ng’abadde omutuuze omulungi awa buli omu ekitiibwa wadde nga ssente abadde azirina.

Taata w’omugenzi, Gerald Kalema yayogedde ku mutabani we ng’abadde empagi luwaga mu famire. Ab’ekigo kya St. Gyaviira e Bunamwaya gy’abadde asabira baayogedde ku mugenzi ng’omusajja eyabadde anoonya obutuukirivu era abulwaniridde okutuusa w’afiiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...