TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino bizinensi ezikuyisa mu nnaku enkulu ng’oli musanyufu

Ziizino bizinensi ezikuyisa mu nnaku enkulu ng’oli musanyufu

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Ziizino bizinensi ezikuyisa mu nnaku enkulu ng’oli musanyufu

Kam1 703x422

Omukyala ng’atikkula ekisero ky’emboga ku loore okuzitunda mu katale e Nakawa.

Ebiseera by’ennaku enkulu bituuse era buli muntu akola okulaba ng’ayingiza ssente mu kiseera kino kubanga abantu bonna babeera bagula eby’okusanyusa abaagalwa baabwe n’eby’okukozesa era ssente zikolebwa abo abassaayo omwoyo n’okuyiiya okuzikola.

Tausi Nabanoba, ow’e Nakuwadde - Bulenga agamba nti ebiseera by’ennaku enkulu bimu ku ebyo by’asinga okwenyumirizaamu kubanga akoleramu ssente okusinga mu myezi gy’omwaka emirala.

Agamba nti: “Mu kiseera kino we nkuh− haanyiriza fiizi z’abaana bange. Tulina abakyala abalunda enkoko ku kyalo. Bano mbeekwata bukyali era Ssekukkulu bw’eba ebuzaako omwezi nga gumu nga mbagulako enkoko ez’ennyama ezibeera zituuse okuliibwa.

Enkoko zino sizitunda wabula nziramu ne nziriisa buto emmere ekiziyamba okusaka ennyama ate ne zisigala nga mpoomu ddala. Kuno ngattako okuzisalira ebiwata ebyongeza ku buwoomu bw’ennyama. Bw’ozigula totawaana na ddagala kuba babeera baazigema dda era ne bw’oba tolina mmere erimu kirungo kino osobola okuziwa emmere etali ntabule. Buli nkoko ngigula 11,000/- kyokka oluvannyuma lw’omwezi gumu nga nzizeemu okuziriisa, bw’oba tolina 35,000/- totawaana kulamuza. Bwe mbaliriramu, buli nkoko mbeera ngimaliddeko 10,000/- zokka.

Kino kitegeeza nti ekitono ennyo, nteekeddwa okufuna 10,000/- ku buli nkoko. Ssente z’obeera nazo zonna zigula enkoko kyokka ng’amagoba g’ofunako gasobola bulungi okukuyisa mu nnaku enkulu. Bannayuganda bave mu kuyimba oluyimba lw’obwavu wabula batetenkanye Ssekukkulu ebanyumire.” Bizinenzi ya Nabanoba y’emu ku bizinensi entonotono omuntu z’asobola okuyingirira mu kiseera kino nga twetegekera ennaku enkulu.

BY’OBA OMANYA NG’OLONDA BIZINENSI EKOLA MU SIZONI ENO

Hajji Jamil Sebalu, omukugu mu bya bizinensi akulaga ezimu ku bizinensi endala omuntu z’otosaanye kubuusa maaso mu kiseera kino. Annyonnyola nti; “Mu kiseera kino waliwo ebintu ebyetaagisa nga tebikola mu biseera birala. Ekikulu kya byonna olina okumanya nti abantu baagala ki era olunaku lwe bagenda okujaguza lutegeeza ki. Okugeza, ng’ovudde ku kusinza, Ssekukkulu abasinga bagitwala ng’olunaku olw’okulya, kusanyuka n’okwambala.

Ebintu bino ebisatu by’oteekeddwa okusooka okutunuulira ennyo. 1 Okulya: l Mu kiseera kino abantu bagenda kugula ebintu bye batalya bulijjo. Emitwalo ebiri zokka zikumala okutandika okusuubula amatooke okuva ku balimi gwe n’ogaguza abasuubuzi oba abantu ssekinnoomu. Amagoba g’ofunye gagatte ogulemu ettooke eddala.

Eyatandisa n’enkota bbiri Ssekukkulu eneegenda okutuuka ng’oli mu 10 n’okusingawo. Eby’otulo by’olina okwesonyiwa osobole okukeera ku mmotoka z’abalimi mu butale. l Osobola okusuubula enva endiirwa nga nnakati, emboga oba ennyaanya n’obutungulu okuva ku balimi kuba nabyo birinaakatale.

Amakulu g’okukeera gali nti, ebbeeyi y’ebirime okuva ku balimi ebeera ntono ddala okusinga ey’abasuubuzi. Era esobolwa abantu ab’enjawulo k’obeere ng’ogenda kutunda ku kyalo. l Kizibu okujaguza Ssekukkulu omuntu n’atawuuta ku ssupu wa nkoko.

Ggwe alina ssente, suubula enkoko enkulu otandike okuzitambuza ku byalo oba mu butale kuba abaguzi gyebali bazirindiridde. Atasobola kino, naawe osobola okugulayo waakiri enkoko ttaano n’oziriisaamu okumala wiiki oba omwezi ate nga bw’ozikolera akatale ku kyalo gy’osula. Ssekukkulu eneegenda okutuuka ng’oli mu magoba.

Osobola okuteekawo omudaala gw’ennyama ku kyalo kyo. Abantu obeera obasemberezza kye baagala okumpi nga tekibeetaagisa kukinoonyeza walala. Wabula, olina okubeera omuyonjo ennyo era okufuna ennyama ennungi eneesikiriza abantu baleme kukuyitako.

Naawe alina wooteeri kino ky’ekiseera okugyongeramu ebiringo. Leeta ebyokulya ebyo by’omanyi nti biwooma era nga n’ebimu bya njawulo ku bya bulijjo. Enfumba nayo gikyuseemu.

2 Amanda: Naawe atunda amanda agafumba oba enku ojja kufunamu kuba buli omu yeetegekera kufumba kubanga bangi babeera na bingi eby’okuteekateeka okulya munnaku zino enkulu.

Abalala mu kiseera kino mwe bakolera emikolo egy’enjawulo nga gyonna gyetaagisa okufumba ate nga bakozesa manda oba nku. Noolwekyo alina enku n’omanyisa abantu naawe obeera ogenda kukola ssente.

3 Eby’okusanyuka: Bino ebiseera bya bubaga. Obubaga buno bulimu abantu abava ebweru n’obuggalawo omwaka. Noonya ebintu ebyo byokka by’osobola okutwalayo. Okugeza, eby’okutimba, endongo n’ebirala ojja kukola ssente.

4 Amazzi: Mu bitundu ebimu naddala mu byalo babeera n’ekizibu ky’amazzi. Ggwe alina obusobozi gula amazzi ogatambuze mu byalo bino. Toggya kusigala kye kimu.

5 Okwambala: Akaseera kano abantu abasinga bali mu keetalo ka kunoonya ngoye mpya. Oli bw’aba alina famire, ye bw’aba tasobodde kwegulira waakiri ajja kugulira abaana oba omukyala. Ky’okola kya kunoonya kifo awali akatale obulungi. 6 Ebirala mulimu:

Okuyooyooya empya: Abantu bali mu kuyooyoota maka gaabwe. Okugeza, funa akuuma akasaawa omuddo otambule nako nju ku nju mu bifo w’omanyi amaka. Ku maka 10 g’oyiseeko, waakiri 3 bajja kwetaaga obuyambi bwo. l Abalala banoonya babasiigira langi ku mayumba. Ggwe akola omulimu guno, totuula butuuzi tambula nga bw’onoonya akatale. Ojja kufuna abantu ate nga nabo bulijjo beebuuza engeri y’okufunamu obuyambi buno.

Entambula: Kino ekiseera kya bantu kuwummulako. Oluwummula luno abasinga balukozesa okulambula bannaabwe n’abalala bagenda mu byalo lwa nsonga nti n’abaana babeera bawummudde. Kitegeeza nti, ggwe akola mu ntambula ojja kuganyulwamu. Ne bw’oba n’emmotoka yo eya buyonjo osobola okugiteeka ku makubo n’otikka abantu nga bw’obatwala mu byalo.

Wabula olina okuba omwegendereza ku budde bw’otambuliramu na wa gy’obatwala. Oteekeddwa kubakomya ku siteegi awali abantu olw’ensonga z’ebyokwerinda.Atunda endagala: Mu nnaku zino abantu bajja kulya ebintu bye bamanyidde n’ebyo bye babadde tebamanyidde oba emmere ey’obutwa.

Manya ddagala ki lye bajja okwetaaga n’ebintu ebirala.

Eby’okwewunda. Muno mulimu eby’omu maaso, enviiri, ebigere, omubiri okugeza abakola masaagi n’ebirala. Funa eby’okwewunda eby’omulembe ojja kukola ssente mu kaseera kano.

Buli alina omulimu noonya engeri gy’ogwongerako ogw’okubiri okugeza, owa saluuni, osobola okugattako ensawo z’abakyala n’engoye. Omuntu bw’ajja okumuyooyoota, osobola okumwagazisa ku bintu bino ebirala n’ofunamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo